
Bya Ronald Mukasa
Bulange – Mmengo
Abakulira Ssettendekero wa Muteesa I Royal University banjulidde Kamalabyonna Charles Peter Mayiga ne Kabineeti ya Kabaka ‘Charter’ gyebaafunye.
Bano ababadde bakulembeddwamu Ssentebe w’olukiiko olufuzi, Dr. Gorret Nakabugo, amyuka Cansala Prof. Vincent Kakembo n’abakulira amatendekero ag’enjawulo ku Ssettendekero ono Kamalabyonna bamusanze mu Bulange ku Lwokubiri.
Ssentebe Dr. Gorret Nakabugo, agambye nti mu byebaasooka okwetema ng’olukiiko olufuzi bwebaali bakajja mu buweereza, kwekuggusa omulimu gwokufuna Charter, era bingi ebibadde bibabuuzibwa National Council for Higher Education naye ekikulu ku bbyo ze ssente, era yeebazizza eggwanika lya Buganda olw’obuvujjirizi obutali bumu.
Dr. Nakabugo annyonnyodde nti oluvannyuma lw’okufuna ‘Charter’ bagenda kunnyikiza okunoonyereza kwabwe nga bayambibwako obukugu okuva mu basomesa bwebalina obwa Doctorate, PhD, era bagenda kutwala Ssettendekero wa Muteesa mu bantu gyebali babayigirize eby’okulima, ebyasaayansi, tekinologiya n’obuyiiya.
Bw’abadde ayogerako eri abakulira Muteesa I, Katikkiro Mayiga agambye nti ayagala abayizi abava ku Muteesa I Royal University nga banyiikivu, bayiiya, ate nga bakola n’okwagala.
Owek. Mayiga asabye abakulira Muteesa I Royal University, okufuba okulaba nga Ssettendekero ono alina kyamanyibwako ekyenkizo naddala eby’obulimi n’ eby’obulamu, basomese abakugu abajja okusomesa ebintu ebitegeerekeka mu ggwanga, era batumbule eby’obulambuzi .
Amyuka Cansala wa Muteesa I Royal University, Prof. Vincent Kakembo, alaze amakulu agali mu kufuna ‘Charter’, okuli, amasomo agasomesebwa gali ku mutendera gwa nsi yonna, eyambako okufuna bannamikago n’obuyambi, abayizi basobola okweyongerayo mu matendekero amalala ku madaala ga masters ne phd, era abayizi basobola okufuna ku nsimbi za loan ezigabibwa Gavumenti eri abayizi basobole okumaliriza emisomo gyabwe.
Ye Minisita w’Ebyenjigiriza n’Enkulaakulana y’Abantu mu Bwakabaka, Owek Choltilda Nakate Kikomeko, ategeezezza nti Minisitule gyakulembera egenda kubeera nsaale okulaba nga eby’enjigiriza ebituukiridde bituuka mu bantu ba Ssaabasajja wansi gyebali era beeyamye okuwa abakulembeze, abasomesa, n’abayizi ba Ssetendekero ono amaanyi batuukirize obuvunaanyizibwa bwabwe.
Ensisinkano eno yeetabiddwako baminisita n’abakungu ab’enjawulo okuva mu Bwakabaka.









