
Bya Gerald Mulindwa
Bulange – Mmengo
Abakulira ekitongole kya Bulungibwansi mu masaza ga Buganda babanguddwa ku nkola ya alipoota n’ensengeka y’entambuza y’emirimu ekolebwa buli luvannyuma lwa myezi esatu okulaga emirimu bwegitambudde.
Obukugu buno bubaweereddwa Minisita wa Bulungibwansi, Obutondebwensi n’Ekikula ky’Abantu, Owek Hajjat Mariam Nkalubo Mayanja ku Lwokubiri mu mu Bulange e Mmengo.
Owek. Mayanja ategeezezza nti basaanide okukola emirimu mu nkola ey’omulembe Omutebi bave mu mirembe egyayita.
Minisita Nkalubo era abasabye batambulize wamu ebitongole byombi ekya Bulungibwansi n’ Obutondebwensi era bafube okunoonyereza ku kiki ekireese obujama n’endwadde okweyongera.
Abakuutidde okwekenneenya amawanga ag’enjawulo agayingidde mu Buganda agazze n’embeera ezitali zimu ezitagoberera nnono ya kitundu kye bayingiddemu era beewale okuzikoppa.
Abasabye bakubirize abantu okufuna ebipipa mwebayiwa kasasiro nakyo kiyambeko okukuuma obuyonjo, era tebakoma okwo Bulungibwansi bamuteekemu polojekiti ez’enkulaakulana, bakole obukulembeze obuggumidde okuva ku butongole okutuukira ddala mu Ssaza enteekateeka eno esobole okubukala.

Ababanguddwa balagiddwa engeri gyebasobola okugunjaawo emirimu, okukola alipoota empandiike, eziraga ebibasomooza n’ebyo ebitambudde obulungi bweba bakulaba gyebalaga.
Alipoota zino zirina okuzingiramu emiti ezisimbiddwa mu bifo e by’enkalakkalira okuli amasomero, amalwaliro, enkiiko ezitudde okutema empenda ezibatwala mu maaso, okukubiriza abantu okukola Bulungibwansi mu bifo mwe baddukanyiza emirimu gyabwe n’okunnyikiza bulungibwansi owoomuggundo.
Ababanguddwa era bakkiriza nti kikulu nnyo okutambuliza kaweefube ono mu baana naddala abaamasomero olwo omumuli gwa Bulungibwansi gusigale nga gutambula.









