Bya Ronald Mukasa
Mmengo Kyaddondo
Kamalabyonna Charles Peter Mayiga asabye abakulembeze okuva mu Buddu bayambeko okunyweza obumu mu bantu ba Ssaabasajja Kabaka.
Obubaka buno Kamalabyonna abutisse, Minisita wa Kabineeti, Olukiiko n’Ensonga z’Abagenyi, Owek. Noah Kiyimba abuwe Bannabuddu abaleese Oluwalo ku Lwokuna.
Owek. Mayiga Abaami ba Kabaka bano abasabye okutema empenda okusobola okuvunuka ebizibu ebyenjawulo byebasanga mubuwereza nga bayita mukwegatta nga abakulembeze ku mitendera egyenjawulo.
Bano era abakuutidde okunyweza ensonga y’okusomesa abaana babwe basobole okubeera n’ebiseera eby’omu maaso ebitangaavu ate a b’omugaso mu ggwanga.
Ku lulwe, Owek. Kiyimba abasabye obutamalibwamu maanyi bitambuzibwa ku mutimbagano wabula bamanyise abantu ba Beene ekituufu.
Bano era akubirizza abantu ba Nnyinimu okwekuuma nga balamu nga bayita mu kwekebeza ssaako n’okwekuuma akawuka kuba Ssaabasajja yakutte omumuli mu kwalwanyisa sirimu era nakuutira abalwadde okumira obulungi eddagala era beewale okukwasa abalala.
Ye Omumyuka wa Pookino ow’okusatu, Owek. Muwanga Dick agumiza abaami ba Kabaka kusomoozebwa okwenjawulo, nti ensonga zonna zakukolwako.
Omukolo guno gwetabiddwako abaami ba kabaka okuva mu ggombolola ez’enjawulo e Buddu ssaako n’abantu abalala bangi.