Bya Francis Ndugwa
Mmengo- Kyaddondo
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye abakulembeze mu bwa Bwakabaka okwongera okubeera abayiiya era bateeke ebirowoozo ebizimba byebalina mu nkola kiyambe okuzza Buganda ku ntikko.
Mukuumaddamula bino yabyogeredde mu Butikkiro olunaku lw’eggulo bwe yabadde aggalawo Olusirika lw’abakulembeze ba Buganda olwatudde okukuba ttooci mu ntambuza y’emirimu n’abasaba okukulembeza ebirowoozo okusinga ssente.
“Okuzza Buganda ku ntikko kyetaagisa birowoozo, ebirowoozo ebyolekezeddwa okubbulula omuntu wa bulijjo ng’essira liri ku baana n’abavubuka. Bwe tukola ebyo Buganda ejja kudda ku ntikko.” Owek. Mayiga bwe yagambye.
Owek. Mayiga yannyonnyodde nti enkola y’emirimu mu Buganda erina okuluubirira n’okwefaananyiriza enkola ya Federo Buganda gye yeegomba. “Federo kitegeeza kugabana buyinza, naye singa obuyinza obwo tubugana, twagala emirimu gifaanane gitya?” Owek. Mayiga bwe yagasseeko. Katikkiro Mayiga yagambye nti kikulu nnyo abakulembeze n’abaweereza mu Bwakabaka okumanyagana kuba kino kibayambe okwewagira ne basobola okutambuza emirimu obulungi.
Ate ye Omumyuka asooka owa Katikkiro Owek. Hajji Prof. Twaha Kaawaase Kigongo, ayanjulidde Kamalabyonna ezimu ku nsonga ezisaliddwawo mu Lusirika luno, era n’asaba abakiise mu Lusirika luno okufuba okulaba nga babutuukiriza. “Okukakasa nti enkola y’emirimu mu Bwakabaka n’ebitongole ya mutindo era etambulira ku nkola ey’omulembe omuggya ey’obuyiiya, obwerufu, okwagala Kabaka ne Buganda, obunyikivu n’obumu.” Owek. Kaawaase bwe yagambye.
Ttabamiruka ono yeetabiddwamu baminisita mu Bwakabaka, abakungu abakulira ebitongole by’Obwakabaka, bajjajja Abataka abakulu ab’ebika, abaami b’amasaza, bassentebe ku nkiiko ez’enjawulo ssaako n’abakulembeze mu Bwakabaka ku mitendera egitali gimu.