Musasi Waffe
Abakulembeze ku mitendera egy’enjawulo mu Bwakabaka bwa Buganda enkya nga 26 Musenene bolekera mu ssaza lya Kabaka erye Ssese, okwetaba mu lusirika. Olusirika luno lugendereddwamu okwefumiitiriza ku wa Buganda weetuuse nawa ggyeraga nge’goberera enteekateeka Nnamutaayiika eyatongozebwa mu 2018. Ng’ayogerako ne Gambuuze, Omumyuka wa Katikkiro o’wokubiri era omuwanika wa Buganda Owek. Robert Waggwa Nsibirwa yagambye nti kyetaagisa okusisinkana balabe oba ebyo byebakiriziganyaako omwaka oguwedde bituukiddwako oba nedda, nakiki kyebalina okussaako essira mumwaka ogujja.
“Buli mwaka tulina akalombolombo kaffe okugenda mulusirika okulaba kiki kyetusobodde okutuukako kubyetwateeka mu Nnamutaayiika, biki ebikyaganye nalwaki bikyaganye, netusala n’amagezi okulaba ng’ensonga zigguka,” Owek Nsibirwa bweyategeezezza. Yagasseeko nti ku mulundi guno essira bagenda kulissa kungeriki gyebayinza okuba n’ennyigiza ey’olutentezi mu Ggwanika lya Buganda enabasobozesa okulaba nga batuukiriza enteekateeka ya Nnamutayiika. “Ebitongole by’Obwakabaka 17 bigenda twanjulira engeri emirimu gyabyo gyegitambulamu, bitubuulire n’eteekateeka gyebirina emyaka esatu mumaaso okulaba nga Nnamutayiika ateekebwa munkola,” Nsibirwa bweyagambye. Abagenda okwetaba mu lusirika luno mulimu olukiiko olufuzi olw’obwakabaka nga lukulemberwa Katikkiro Charles Peter Mayiga, Ab’amasaza, Bassentebe b’obukiiko bw’olukiiko lwa Buganda, akakiiko akafuzi ak’abataka, bassentebe b’ebitongole ne bassenkulu babyo, ssaako abantu ab’enkizo abalala. Olusirika lutandika nga 26 okutuuka nga 29.