Musasi waffe
Reverend Dr James Bukomeko atuuziddwa ng’omulabirizi w’obulabirizi bw’e Mityana ku kkanisa ya St Andrews Church e Namukozi.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asinzidde wano n’akubiriza abakulembe ku mitendera egy’enjawulo okuyiga okuwaayo obukulembeze mu mirembe eri abantu abalala.
“Akalombolombo k’okukyusa obukulembeze kalungi nga twerekereza netukwasa abalala. Ssaabalabirizi Ntagali temulaba ng’akyali muto naye yeerekereza. Tweyongera okukulaakulana kubanga bulyomu ajja n’ebirowoozo bye,” Mayiga bwagambye.
Bukomeko okulondebwa ku ky’obulabirizi kyaddirira okulondebwa kwabaddae Omulabirizi Dr Steven Kazimba Mugalu nga Ssaabalabirizi w’ekkanisa ya Uganda.
Ono agenda kuddira Ssaabalabirizi Stanely Ntagali mu bigere agenda okuwummula emirimu omwezi ogujja oluvanyuma lw’okuweza emyaka 65 egyassalirwa okubeera omulabirizi.
Mayiga agambye nti omuntu okulondebwa ku kifo ky’obukulembeze aba afunye obuvunanyizibwa bunene obujja n’okusoomoozebwa.
“Omulabirizi Bukomeko tumulinamu essuubi ddene nti agenda okuyitimusa obulabirizi bw’e Mityana mu by’omwoyo n’omubiri,” Mayiga bwagambye. Agasseeko nti buli webabeera ku nsonga z’eddiini kiba kizibu nnyo obutogera ku Bwa Kabaka, n’ategeeza nti engeri eddiini yaabagoberezi ba Kulisito gyeyajjamu ye yasaawo omukago n’Obwakabaka ng’era kyetaagisa okugukuuma.
“Obuwangwa n’ennono mu mulembe Omutebi kitegeeza abantu abalina emmere gyebalya abantu abalamu obulungi, abettanira eby’enjigiriza, abantu abalina ke bayingiza , abantu abeeyagalira mu ddembe lyabwe eryo’bwebange, abavubuka abalina emirimu gyebakola. Nina essuubi ddene nti nga Bukomeko yemulabirizi w’e Mityana, omukago oguluubirirwa okukola ebyo gujja kutinta tuzze Buganda ku ntikko,” Mayiga bwagambye.
Ku lulwe, Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni ayozaayozezza Bukomeko wamu n’abakulistaayo b’e Mityana olw’okufuna omulabirizi omujja.
Mu bubakabwe obwamusomeddwa Ssaabaminisita Dr Livingstone Ruhakana Rugunda, Museveni, era yasiimye Olukiiko lw’abalabirizi olw’okulonda Dr Bukomeko ng’omulabirizi.
“Oweereddwa obuvunanyizibwa bw’okulungamya abantu ba Katonda mu mpisa ennungi wano ku nsi wamu n’okubateekateeka okwefunira Obwakabaka bwa Katonda obutaggwaawo. Nkakasa nti Omulabirizi Bukomeko ajja kutambulira mu buufu bw’abo abamusooka,” Museveni bwagambye
Asabye bannaddiniobutenyigira mu byakulyowa myoyo kyokka kubanga Yesu Kulisito sikyeyasomesa kyokka wabula n’obwetaavu bwa bantu obw’okunsi.
“Nkubiriza ekkanisa okukubiriza abantu okwenyigira mu nteekateeka za gavumenti ezigendereddwamu okugoba obwavu naddala mu maka,” Museveni bweyagambye.
Kululwe, Dr Bukomeko yeeyamye okukolagana obulungi n’abantu bonna e Mityana okusobola okutumbula enkulaakulana wamu n’obumu.
Omukolo gwetabiddwako bannadiini okuva mu nzikiriza ez’enjawulo okwabadde ne Ssabasumba Dr Cyprian Kizito Lwanga.