![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2019/11/gen-saleh.jpg)
Bya Musasi waffe
Abakulembeze b’abayizi ba Ssettendekero we Makerere basisinkanye omuwabuzi wa pulezidenti ku by’okwerinda Gen Salim Saleh nebamunyonnyola embeera eyaviirako okwekalakaasa okwamala kumpi sabbiiti bbiri. Mukiwandiiko ekyateereddwako omukono gw’akulira abayizi Julius Kateregga, abayizi bano Saleh, ng’ono era muganda w’omukulembeze w’eggwanga bamusisinkanye eggulo nebamutegeeza okwekalakaasa kwekwava n’akiki ekirina okukolebwa okusobola okukamalirawo ddala.
“Tetugenda kuweera okutuusa nga abo abaatulugunya bayizi bannaffe bavunaaniddwa. Tetwagala kuddamu kulaba ng’eddembe ly’abayizi wamu n’abantu babulijjo nga lirinyiriddwa,” Kateregga bweyategeezezza mu kiwandiiko. Yagaseeko nti bagenda kukola ekisoboka okulaba nti buli muntu akatwatibwako bamutuukirira okulaba ng’okwemulugunya kw’abayizi kukolwako.
Bino webijjidde, ng’akakiiko ka palamenti akakola kuby’enjigiriza kali mukunonyereza ku kiki ekyaviirako okwekalakaasa e Makerere nakiki ekirina okukolebwa okumalibwawo.