
Bya Ssemakula John
Entebbe
Abakulira Abakyala mu Buganda abaali bagenda e South Afirika mu Ttabamiruka w’ amaka bakomyewo ku butaka enkya ya leero ku Lwokubiri.
Bano bakulirwamu minisita w’Enkulaakulana y’Abantu, Eby’enjigiriza ne Woofiisi ya Nnaabagereka, Owek. Prosperous Nankindu Kavuma awamu n’abakulembeze b’abakyala ku mitendera egy’enjawulo.
Bwe babadde baakatuuka ku kisaawe e Ntebe, Owek. Prosperous Nankindu Kavuma, agambye nti bakomyewo bulungi, n’akakasa nga omulimu bwe bagukoze, era bamativu nti obugenyi bwabwe buleseewo enjawulo nnene mu nsonga z’obufumbo n’amaka g’abantu mu bukulembeze bw’ennono e South Africa.
Bano beebazizza Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi olw’enteekateeka eno gye yasiima ebeewo mu bantu be ab’ebweru, ate n’obuwabuzi bwonna obwali mu ntanda eyabatikkibwa nga bagenda.
Ssentebe waabwe, Dr. Sarah Nkonge, abakyala basabye enteekateeka egaziyizibwe ne mu bitundu ebirala kuba baasaanze ebizibu bingi mu maka g’abaana ba Nambi e South Africa, kyokka nga bisobola okugonjoolwa, oluvannyuma lw’okulambikibwa obulungi.
Olugendo luno lwetabwamu; Omuzaana Agnes Kimbugwe; Oweek. Ann Kigudde; Oweek. Jane Francis Lukwago, n’abakyala abalala. Bano baawerekerwako Oweek. Rashi Lukwago, omu ku bangunjuzi mu Kisaataake kya Maama Nnaabagereka.
Guno gwe mulundi ogusoose, Ttabamiruka w’Abakyala ba Buganda, okutwalibwa ebweru wa Buganda, era abakyala balina essuubi nti enteekateeka ejja kuyamba nnyo okunyweza amaka n’obufumbo bw’abantu ba Buganda ababeera ebweru, ate n’okubayamba ne ku ngujula y’abaana.









