Bya Betty Namawanda
Bukomansimbi – Buddu
Abakulembeze abalonde e Bukomasnimbi babanguddwa ku ngeri gye bayinza okuteekerateekera abantu ab’enjawulo okusobola okuganyulwa mu mbalirira ya disitulikiti mu ngeri ey’ekyenkanyi.
Omusomo gw’okubangula abakulembeze guyindidde ku kitebe kya disitulikiti y’e Bukomansimbi nga gukulembeddwamu Lukungu Bashiri okuva mu kitongole ekirafuubanira obwenkanya ekya Equal opportunities Commission, okuyamba n’okuzibula abakulembeze maaso okumanya omulimu ogwabatumwa abalonzi.
Omukugu Lukungu Bashiri ategeezeezza nti kya bwenkanya abantu mu biti eby’enjawulo omuli; abaami, abakyala, abavubuka ,abaliko obulemu n’abalala okuganyulwa mu buli kintu ekikolebwa mu mbalirira ya disitulikiti eno.
Lukungu alabudde abakulembeze obutetantala kusibira balonzi ekikookolo nga beekwasa nti akalulu kawedde bano abasabye okuweereza abalonzi kyenkanyi kuba kati kaseera kakuweereza bantu.
Bo bakkansala abeetabye mu musomo guno beebazizza abaategese omusomo guno kubanga baabayambye okubazibula amaaso nga bingi bye baayize bye baabadde tebamanyi omuli obutaagaliza.
Mu ngeri yeemu Ssentebe wa disitulikiti eno omulonde, Nyenje Fred Kayiira, yategeezezza nti abakulembeze bayina okukola emirimu gyabwe obulungi.
Yasabye bakkansala okwewala entalo mu kkanso naye bafeeyo ku kimu kya kuweereza bantu naddala bwe kituuka ku kuyisa embalirira.
Mu kwogera kwe amyuka omubaka wa Pulezidenti e Bukomansimbi, Asaba David Nkojjo, yategeezezza nti baakuyambako abakulembeze bano naddala ng’essira baliteeka mu kuweereza abantu n’okunyweza obumu.