
Bya Francis Ndugwa
Mityana
Abakulembeze e Mubende balabudde gavumenti obutagezaako kukola nnongoosereza mu tteeka ly’ettaka lya mayiro kuba ligendereddwamu kunafuya Bwakabaka bwa Buganda, kuba okusinga liri mu kitundu kino.
Bano nga bakulembeddwamu Mmeeya wa Mityana, Ssaalongo Mukambwe Lukonge bategeezezza nti ebizibu byonna ebiri mu Uganda ebyekuusa ku ttaka, tebiva ku mateeka wabula ku bukulembeze obubi obulema okugateeka mu nkola.
“Ekizibu si ttaka lya mayiro wadde bannanyini ttaka, ekizibu si basenze naye ekizibu kiva ku bukulembeze mu gavumenti eyaawakati n’abakwasisa amateeka. Mwenna mukimanyi nti gavumenti y’erina emmundu era emirundi mingi tufuna abantu abagobaganyizibwa ku ttaka ku mudumu gw’emmundu.” Lukonge bwe yannyonnyodde.
Ono yeewuunyizza lwaki abantu abasinga baddukira ttaka lya Buganda ate nga n’ebitundu ebirala waliyo ettaka. Bw’atyo n’asaba gavumenti okwetereeza mu kifo ky’okwekwasa ettaka lya Mayiro kuba abanene baayo be bali mu kugobaganya abantu.
Bano okusaba kuno baakukoledde ku kitebe kya disitulikiti y’e Mityana mu musomo gwa ‘Land Awareness Week’ ogwategekeddwa Minisitule y’ebyettaka mu ggwanga wamu ne bannamikago okuli; Buganda Land Board, Action Aid, Pulum Uganda n’abalala.
Mu nteekateeka ya ssabbiiti eno eyaweereddwayo okubangula abantu ku nsonga z’ettaka, omusomo gugenda kutambuzibwa mu disitulikiti okuli; Mityana, Mubende, Kyankwanzi ne Kassanda mu kaweefube w’okwongera okumanyisa abantu ku buvunaanyizibwa ku ttaka n’engeri gye basobola okulikozesa okwekulaakulanya.
Akulira eby’ettaka mu Minisitule, Naome Kabanda era nga ye yagguddewo omusomo guno, yagambye nti gavumenti tesobola kukola nkyukakyuka zonna nga tesoose kwebuuza ku bantu.

Omu ku bataka b’ekitundu era mmeeya wa Divizoni y’e Mityana, Daudi Malagala yasabye abakulu okutwala ebirowoozo byabwe nga bikulu, kireme kuba nga bwe gwali ku tteeka eryaggyawo ekkomo ku myaka.
Eyakiikiridde Ssenkulu wa Buganda Land Board, Olivia Cox Namaganda yategeezezza nti Buganda ebadde nsaale mu kunyweza abantu ku ttaka ng’ebawa ebiwandiiko ebituufu omuli n’okufuna ebyapa mu nkola emanyiddwa nga ‘Kyapamungalo.’
Namaganda annyonnyodde nti kikulu okusomesa abantu ku nsonga z’ettaka era kino Buganda ezze ekikola ne kiyamba okuteekawo enkolagana ennungi wakati wa Buganda n’abantu.
Omusomo guno gwetabiddwako; abantu baabulijjo, abakulembeze okuva mu Mityana , Mubende, Kassanda ne Kyankwanzi awamu ne bannamikago.









