Bya Musasi Waffe
Kampala
Abakugu okuva mu kitongole ekirabirira obutonde bw’ensi ekya National Environment Authority (NEMA) wamu ne Minisitule y’ebyobulimi, obulunzi n’obuvubi, balaze ekivuddeko ebyennyanja naddala empuuta okufa ku nnyanja Nalubaale (Victoria) ne Kyoga naye nga si butwa nga bwe bibadde biyiting’ana.
Okusinziira ku bakugu bano, kino kivudde ku kukendeera kw’omukka ogw’obulamu ogwa ‘Oxgyen’ mu mazzi g’ennyanja zino.
“Empuuta kye kimu ku byennyanja ebikosebwa okukendeera kw’omukka gwa ‘Oxygen’ era olw’amataba agatulumba, amazzi geeyongera mu nnyanja negabikka omuddo ogwaliko era guno negukka wansi ku ntobo y’ennyanja olw’ensonga nti nagwo gukozesa omukka guno ogwa Oxygen, obungi bwagwo bwakendeera nekikosa ebyennyanja bino.” Abakugu bwe bannyonnyodde.
Baggaseeko nti omuyaga omungi oguli ku nnyanja Nalubaale gwaleetera ennyanja okufuna amayengo ag’amaanyi era ne yeetabula mu mazzi agabeeramu ebyennyanja bino nekikendeeza omukka gwa ‘Oxygen’ ekivuddeko okufa kw’ebyennyanja bino.
Kino kiddiridde abantu abawangaalira mu bitundu ebiriraanye ennyanja zino okwekubira enduulu ku kufa kw’ebyennyanja bino naddala empuuta nga bagamba ennyanja yandibanga baagisuddemu obutwa.
Kimanyiddwa nti guno si gwe mulundi ogusoose ebyennyanja okufa engeri eno era nga kino kibaawo oluvannyuma lw’akaseera era nga abatuuze baakituuma ‘Kaliro’.
Abakwatibwako ku nsonga eno basabye abatuuze okuziika ebyennyanja bino kikendeeze ku kivundu ekisaanikidde ekitundu kino, ngokunoonyereza ku nsonga eno bwe kugenda mu maaso.