Bya Ssemakula John
Kampala
Abakozi mu Bwakabaka basabiddwa bulijjo okwekuuma endwadde z’omutima nga beekebeza buli luvannyuma lw’ebbanga eggere, kibayamba okutuukiriza obuvunaanyizibwa obwabaweebwa Ssaabasajja Kabaka.
Obubaka buno baabufunidde mu musomo gw’ebyobulamu ogwayindidde ku mbuga enkulu e Bulange-Mmengo nga gwategekeddwa aba Healthy Heart Foundation n’Obwakabaka.
Enteekateeka eno y’omu ku kaweefube akulembedde okwefumiitiriza ku lunaku lw’obulwadde bw’omutima mu nsi yonna olukuzibwa buli 29/ September. Era abaweereza baabanguddwa ne ku ndwadde endala ez’omutawaana omuli okusannyalala, kkookolo, ssukaali awamu n’endala.
Akulira ekitongole kya Healthy Heart Foundation, Owek. Rita Namyalo yategeezezza nti emirundi mingi bannayuganda bangi bafiirwa obulamu olw’obutamanya era kino kye balwanako.
Owek. Namyalo yanokoddeyo kamunguluze, obukoowu nga obubonero obusinga okwoleka omuntu ayolekedde okufuna obulwadde bw’Omutima oba okufuna obulwadde bw’okusannyalala (Stroke) nga kya nsonga omuntu buno obutabubuusa maaso.
Abeetabye mu musomo yabasabye okukyaliranga abasawo oba abakugu mu by’obulamu singa bafuna enkenyera yonna.
Owek. Namyalo abawadde yabasabye okujjumbira okukola dduyiro awamu n’okulya obulungi kibayambe okwegobako endwadde.
Omumyuka w’Omuwandiisi ow’enkalakkalira, Peter Zaake yannyonnyodde nti ebyobulamu gye gimu ku mirimu Obwakabaka kwe bussa essira ng’enteekateeka eno eyambako okutumbula ebyobulamu by’abakozi ba Ssaabasajja kibasobozese okutuukiriza obuvunaanyizibwa obwabaweebwa Beene.
Okwongera okukakasa ensonga eno, abakozi ba Ssaabasajja oluvannyuma lw’okubangulwa baakebeddwa endwadde ez’enjawulo okuli; Puleesa, Omutima, Ssukaali n’endala.