Musasi waffe
![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2020/07/Justine.jpg)
Abakozi ku kitebe ky’ekibiina ekiri mu buyinza ekya National Resistance Movement [NRM] basaangiddwamu ekirwadde kya ssenyiga Kolona.
Okusinziira ku Ssaabawandiisi wa NRM Justine Kasule Lumumba, ababiri bano bataatuukirizza mannya bali mu bifo bya waggulu mu kibiina.
“Enkya yaleero abakozi baffe babiri ebenkizo ku kitebe kya NRM basaangiddwamu akawuka ka Covid-19 are batwaliddwa mu ddwaliro okujjanjjabwa. Tukolagana n’abakugu era tujjakubaawo n’okulambikibwa ku butya bwetujja okugenda mu maaso n’okukola emirimu. Nsaba bulyomu okw’ongera okuba obulindaala wamu n’okwekuuma ekirwadde kino,” bwatyo Lumumba bwayogedde ku kibanjakye ekya Facebook.
Woosomera bino nga abantu babiri bebaakafa ekirwadde kya kolona ng’ate abalala 1140 bebaakakwatibwa.
Wabula kubano 1028 bamaze okussuuka.