Bya Ssemakula John
Kampala
Abakozi bataano mu lukiiko lw’eggwanga olukulu bataano basangiddwamu ekirwadde ki Ssennyiga Corona.
![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2020/09/Palamenti-1024x683.jpg)
Okusinziira ku amyuka akulira eby’amawulire ku Palamenti Hellen Kaweesa, kino bakizudde oluvanyuma lw’okusalawo okukebera abakozi mu kizimbe kino.
Ekiwandiiko Kaweesa kyeyafulumizza kinyonyola nga abasangiddwa n’ekirwadde bwebamaze edda okubategeeza ebyavudde mukukeberwa era nebasindikibwa mu malwaliro agajjanjaba ekirwadde kino okusobola okufuna obujjanjabi.
Kaweesa yalambuludde nti bakufuuyira ekizimbe kino kyonna enkya ku Lwomukaaga kiyambeko okukendeeza ku misinde ekirwadde kino gyekisaasaanirako.
“Omuwendo gw’abakozi tugenda gukendeeza mbagirawo, abakozi abaaliko nabasangiddwamu ekirwadde kino balagiddwa okusigala awaka mu Kalantiini nga bwebalinda okulaba oba balina obubonero bwabalina ssennyiga Corona,” Kaweesa bweyalambudde.
Bino webigidde nga Minisitule y’ebyobulamu leero ekakasizza nga abantu 65 bwebazuuliddwamu ekirwadde kino ate nga babiri bo entamu ezabwe zivuunikiddwa.