Abakozi abasoba mu 100,000 bebaakafiirwa emirimu olw’ekirwadde kya coronavirus.
Ate abalala obukadde buna n’emitwalo ana, banneekoleragyange nabo essente zebabadde bafuna zigenda kukendeera oba okuggwerawo ddala.
Bino biri mu alipoota eyakolebwa aba United Nations Capital Development Fund,[UNCDF] mwebaabuuliza abantu abali mu mirimu egy’abuljjo wamu n’abakozesa ab’enjawulo mu makampuni.
Okusinziira ku kunoonyereza kuno, amawooteeri, ebirabo by’emmere, ebirombe ebisima eby’obugagga eby’omuttaka, eby’emizannyo, abayimbi, amakolero, amaduuka, byebimu kubigenda okusinga okukosebwa.
Aby’obulimi ngate bbyo tebyakosebwa muggalo nabyo bigenda kukosebwa nga abantu 11,065 bagenda kufiirwa emirimu eno.
Bano ekyasinga okubakosa kwali kuba nga tabasobola kutunda birime byabwe wamu n’okulabirira ennimiro zaabwe.
Amaduuka agali mu zi ssemadduuka n’ebizimbe kati ebiggaliddwa okumala emyezi ebiri bigenda kugoba abantu 6879.
Ate zo zi banka zigenda kugoba abantu 2652. Kino kitegeeza nti gavumenti tegenda kusobola kufuna musolo gwonna gweyali esuubira omwaka guno.
Kino kitegeeza nti embeera y’obulamu bw’abantu egenda kwonooneka kubanga buli muntu alina omulimu alabirira lwakiri abantu basatu.
Ekirwadde kya coronavirus kikosezza abantu ab’enjawulo bangi wamu n’ebyenfuna ara nga bannanyinizo bategeezezza nti okugoba bakozi y’engeri yokka gyebasobola okukuuma amakampuni gaabwe nga gakyakola.
UNCDF yategeezezza nti eggwanga ligenda kufiirwa obutabalika 12.8 okusinziira ku bbanga omuggalo lyegugenda okumala.
URN