Bya Betty Namawanda
Rakai –Kkooki
Abantu ba Kabaka abawangaalira mu ssaza ly’e Kkooki mu disitulikiti y’e Rakai, bawanjagidde Obwakabaka ssaako n’Abazirakisa, okubakwasizaako okubaggya mu mbeera gye bayitamu, basobole okukyusa obulamu bwabwe.
Bano okuli; abakadde, bannamwandu, bamulekwa n’abalala, bagamba nti basanze okusoomoozebwa mu by’enjigiriza, mu by’enfuna, mu by’endya, ssaako n’ebyensula era wano we basabidde Obwakabaka okubwakwasizaako.
Abakooki bino babiroopedde abakulu okuva mu gavumenti ya Kabaka ne bannamukago b’ekitongole kya Habitat for Humanity, ababadde bakyaddeko mu ssaza lino nga bamazeeyo ennaku 2 mu kaweefube w’okulaba engeri gye basobola okuteekawo amaka ag’enjawulo wansi w’enteekateeka eyatuumibwa amaka amalungi ,akaalo amatendo. Bano bagenyiwaddeko mu maka ag’enjawulo okuli aga mukyala Harriet Akayo ku kyalo Byakabanda mu ggombolola ya Ssaabawaali- Byakabanda, Nakisekka Gertrude ku kyalo Kigayazza mu ggombolola ya Ssaabagabo Buyamba, Nakanwagi Jane ku kyalo Kabala mu ggombolola y’e Kifamba, Nakafeero Hasifah ku kyalo Kagamba, Namayanja Janet ku kyalo Kigayazza, Namazzi Ferisitansi n’abalala.
Wabula abantu bano battottodde ebizibu bye bayitamu oluvannyuma lw’okufiirwako abantu baabwe abaali babayambe kyokka nga n’abalala abaami baabwe baabaddukako ne babalekera obuvunaanyizibwa nga tebamanyi mayitire baabwe. Wano we basinzidde ne basaba Abazirakisa okubakwatirako.
Ye omuweereza mu Minisitule y’ebyettaka, obulimi, Bulungibwansi n’obutonde bw’ensi, Mujjuzi Azizi nga yatumiddwa Oweekitiibwa Mariam Mayanja Nkalubo okutambula n’aba Habitat for Humanity, ategeezezza nti baagadde okumanya embeera abantu bano mwe bali era balabe oba basobola okuganyulwa mu nteekateeka eno.
Ono era ategeezezza nti abantu b’e Kooki okusinziira ku kye balabye beetaaga okuyambibwa era n’asaba Abazirakisa okuyamba ku bantu bano.
Ate ye Brenda Luyiga okuva mu kitongole kya Habitat for Humanity agamba nti balina omukago ne Ssaabasajja okutalaga amasaza gonna n’ekigendererwa ky’okunoonya abantu abateesobola, engeri gye bayinza okuvvuunuka obuzibu buno.
Ye omukwanaganya w’emirimu gya Ssaabasajja Kabaka e Kkooki, Owek. Nakalanzi Gertrude Ssebuggwawo, annyonnyodde nti obwetaavu mu bantu be bwali bungi n’asalawo okuwandiikira bakama be e Mmengo okumuyambako okutumbula ebyenfuna, ebyenjigiriza n’ebirala.
Abatuuze n’abakulembeze mu kitundu kino, bo balaze obwennyamivu ku mbeera bannaabwe gye bayitamu nga bagamba nti eyungula amaziga.