Bya Ssemakula John
Namirembe
Ssaabalabirizi w’Ekkanisa ya Uganda, Stephen Kazimba Mugala asabye Pulezidenti Museveni akyuseemu ku biragiro ebipya bye yawedde bwe yabadde aggulawo amasinzizo, nga ayogerako eri eggwanga ku mbeera y’ekirwadde kya COVID-19 ku lunaku lwa Ssande.
Museveni yaddirizza ku muggalo gw’ebifo ebimu bwe yalagidde amasinzizo okuggulawo oluvannyuma lw’okumala emyezi mukaaga nga gaggaddwa wabula n’alagira bano bafube okukuuma ebiragiro bya Ssennyiga Corona. Yalagidde abakkiriza bawulwemu ebibinja bya bantu nsanvu kiyambeko obutasaasaanya kirwadde kino.
Bweyabadde ayogerako eri bannamawulire ku Lutikko e Namirembe ku Mmande, Kazimba yasabye Pulezidenti Museveni akkirize omuwendo ku bantu abalina okusaba gutuukane n’obunene bw’esinzizo.
“Lutikko yaffe ku Ssande emu ebeeramu abantu abawera 4000 mu kusaba okw’enjawulo, bw’ogamba bano tubateeke mu bibinja by’abantu 70 tuba tugenda kwetaaga okusaba kwa mirundu 57 okusbola okubamalawo. Kino tekikolerako ddala,” Kazimba bwe yategeezezza.
Kazimba yasabye gavumenti ekkirize okusinza okwawamu kuba ebifo bino bisobola bulungi okugoberera ebiragiro bya COVID-19.
Ssaabalabirizi yakubirizza abakkiriza okusigala nga basabira ku leediyo, ttivvi, be ku mitimbagano kibayambeko okwekuumira ku Katonda.
Ono yasabye amasomero agali ku musingi gw’ekkanisa ya Uganda okukolagana ne minisitule y’ebyenjigiriza basobole okuteekerateekera abayizi abagenda okukola ebibuuzo byabwe ebyakamalirizo.
Yasuubizza ng’ekitongole ky’ekkanisa eky’ebyenjigiriza bwe kyetegese okubakwasizaako.
Kazimba yasiimye ekitongole ekirondoola eby’enjigiriza ebyawaggulu olw’okukkiriza ssettendekero wa Uganda Christian University (UCU) okusomesa abayizi ku Yintaneeti.