Bya Gerald Mulindwa
Kakiri
Omumyuka wa Katikkiro Asooka Oweek. Twaha Kaawaase, asabye abafumbo bulijjo okwesonyiwa eby’okumagamaga era bakimanye mu buli kyebakola nti obufumbo bwabwe babiri.
Oweek. Kaawaase nga yeyakikiridde Katikkiro Mayiga, bino yabyogeredde mu kwanjula kw’omukozi wa BBS Terefayina Fatumah Nakiwala kwayanjulidde omwagala we Ronnie Mubiru Nsubuga mu maka g’ abazadde be e Kakiri mu Busiro ku Lwomukaaga.
“Kansooke kuyozaayoza bazadde ku njuyi zombi kubanga bulijjo tuzaala abaana naye nga tetumanyi oba balifumbirwa, kale n’olwekyo muyogeeyoge bannaffe,” Oweek. Kaawaase bweyategeezezza.
Oweek. Kaawaase yasabye omugole Fatumah Nakiwala okunywerera mu bufumbo kubanga obuvunaanyizibwa bugenda kumweyongera kuba kati afuuse omuntu asobola okwesigika.
Ye minisita w’ amawulire n’ensonga za Kabineeti Oweek. Noah Kiyimba yategeezezza nga empisa bwezirina okubeera enkulu nga abaagalana banoonya ababeezi.
Ono yatenderezza bazadde ba Nakiwala olw’okumukuliza mu mpisa ate nabeera nga muwala mukozi eyeegombesa buli muntu.
Akulira abakozi ku BBS Terefayina Petua Luutu, yasabye abafumbo bano buli okuwuliziganya n’okwekwatanga ku Katonda nga waliwo ebibasomooza.
Omukolo guno gwasitudde ab’ebitibwa okuva mu gavumenti ya Ssaabasajja Kabaka okuli; Omumyuka ow’okubiri owa Katikkiro Oweek. Waggwa Nsibirwa, Minisita Kyewalabye Male, Minisita Kawuki, Katikkiro eyawummula Oweek. Mulwanyamuli Ssemwogerere, Ssaabawolereza Christopher Bwanikan’ abakungu abalala.