• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Omulabirizi Luzinda ne maama bajjaguza emyaka 15 mu buffumbo

Gambuuze by Gambuuze
September 18, 2026
in Amawulire
0 0
0
Omulabirizi Luzinda ne maama bajjaguza emyaka 15 mu buffumbo
0
SHARES
46
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Samuel Stuart Jjingo

Namirembe – Kyaddondo

Omulabirizi Elia Paul Luzinda Kizito wamu ne maama Omumbejja Florence Wanyana Luzinda bajjaguza emyaka 15 mu bufumbo obutukuvu.

Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda Owek. Patrick Luwaga Mugumbule, ku lwa Katikkiro Charles Peter Mayiga, ayozayozezza abafuumbo bano olw’okutuuka ku kkula lino nga bino bibadde mu kusaba okuteegekeddwa ku Lutikko e Namirembe okwebaza Katonda.

Okusaba kuno kukulembeddwamu Ssaabalabirizi w’Ekkanisa ya Uganda Rt. Rev. Dr. Steven Samuel Kazimba Mugalu. Mu ngeri yemu, Owekitiibwa akulisizza Omulabirizi Eriya Paul Luzinda Kizito olw’okuweza emyaka 81 egy’obukulu neyebaza Katonda olw’okumukuuma.

“Nnamusa Omulabirizi Elia Paul Luzinda Kizito ne mukyala wo Omumbejja Florence Wanyana Luzinda, era mbayozaayoza okuweza emyaka 15 mu bufumbo obutukuvu. Mu ngeri yeemu njozaayoyoza Omulabirizi Eriya Paul Luzinda Kizito olwokuweza emyaka 81. Mukulikire ddala bannaffe” Katikkiro.

Oweekitiibwa yeebazizza Omutonzi olw’emyaka 81 gy’awadde Omulabirizi kubanga mu myaka egyo, amukoledde ebikulu nkumu ebigwanidde okwebaza, mu naddala obuweereza mu Kkanisa ku mitendera egy’enjawulo okutuukira ddala bwe yafuuka Omulabirizi.

“Obuweereza bwo tebugasizza Kkanisa yokka, kyokka bugasizza Buganda yonna okutwalira awamu, kubanga e Mukono gye yaweerereza ng’Omulabirizi, wali mu Ssaza lya Beene ery’e Kyaggwe. Awonno tukwebaza olw’emirimu ate n’enkolagana ennungi n’Obwakabaka,” Katikkiro.

Mukyala Florence baye yebaziddwa olw’okukuuma omwami we n’okumulabirira emyaka kati 15, ate neeyebaza n’abaana babwe, n’abooluganda bonna abatambudde nabwo ebbanga lino lyonna.

“Owadde eky’okulabirako eri obantu abalala obutaggwamu ssuubi ng’obuzibu buzze. Nneebaza abantu ba Katonda bonna abaakulwanirira yonna gye wayita ng’oli mu buweereza, okuviira ddala ng’oli mwawule,” Katikkiro.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist