• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Ababiito be Kibulala balabudde Wasajja Moses, eyeeyita Kabaka w’emisambwa

Gambuuze by Gambuuze
January 22, 2025
in Amawulire
0 0
0
Ababiito be Kibulala balabudde Wasajja Moses, eyeeyita Kabaka w’emisambwa
0
SHARES
49
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Pauline Nanyonjo

Bulange – Mmengo

Ababiito be Kibulala beegaanye omusamize Wasajja Moses, eyeyita Kabaka w’emisambwa e Kibulala  eyalabikiddeko mu katambi nga akongojjebwa nga Kabaka nebamusaba kino okukikomya.

Kino kiddiridde akatambi okusaasaanira omutimbagano nga omusamize eyeeyita Ssaabakabona Jjumba Lubowa Aligaweesa, ayanjula musamize munne Wasajja Moses nga atuuziddwa ku Nnamulondo ya Bajjajjaabe e Kibulala ewa Ssekabaka Winyi.

Kino kiwalirizza Ssaababiito w’e Kibulala, Omulangira Walugembe Kateregga okufulumya ekiwandiiko eri bannamawulire nga atangaaza ku katambi kano era kino akisomedde bannamawulire abakung’aanidde mu Bulange e Mmengo ku Lwokusatu.

Ssaababiito w’e Kibulala Omulangira Walugembe Kateregga ategeezezza nti Olubiri lwe Kibulala lumanyiddwa bulungi mu Bwakabaka bwa Buganda nti bwe butaka bw’Abalangira n’Abambejja Ababiito abasibuka mu Ssekabaka Winyi Chwa Male Wasswa, ng’ono yazaalibwa ne balongo banne okuli ne Chwa Nabakka e Bugumya.

Ono agattako nti  Abalangira be Kibulala olwa leero bakulemberwa Ssaababiito Walugembe Kateregga V era obwa Ssaababito obwasooka bwateekebwateekebwa Ssekabaka Dsudi Chwa mu 1800, olwo Sir Edward Muteesa n’atongoza Olulyo lw’Abalangira Ababiito mu bwa Wasswa n’okutuusa kati era Nnaalinnya w’Amasiro ge Kibulala e wa Winyi mu kiseera kino ye Mumbejja Dina Kigga muka Lukidi omwana wa Ssekabaka Sir Edward Luwangula Muteesa II.

Ekirala, Ennono n’obuwangwa bw’Abalangira n’Abambejja be Kibulala etambulira wamu n’olulyo Olulangira olw’abaana ba Kabaka Kintu era Ssaababiito Walugembe akakasizza obuganda nti Ssaababiito, ba Jjajja abakulira emituba batambulira wansi wa Ssaabasajja Kabaka wa Buganda era n’Obuganda.

Ssaababiito Walugembe Kateregga akkaatirizza nti abo abeeyita ba Kabaka b’emisambwa nga Kafunenda Moses nga beegasse wamu n’abeeyita ba Ssaabakabona Jjumba e Kibulala tebabamanyi era emikolo gyabwe baagikolera eyo mu Buddu sso ssi Kibulala e Ssingo era balina ebigendererwa bya kutabangula bwa Kabaka nga beesigama ku Kibulala ate nga e Kibulala tebalinaayo mikolo gyonna gyekuusa ku kutuuza Kabaka nga egyo egirabikira mu katambi.

Ye Nnaalinnya Dina Kigga agamba nti emikolo Omulangira Moses Wasajja gyeyakola tebagimanyiiko era byonna bye yakola bya kyewaggula.

Jjaja w’Olulyo Olulangira mu Bwakabaka bwa Buganda, Omulangira Luwangula Basajjansolo asabye bazzukulu ba Buganda okwewala okwenyigira mu nsonga eyinza okuvaako okutabangula emirembe mu Bwakabaka kubanga Obwakabaka bwa Buganda bulina emitendera egiyitibwamu okutuuka ku Ssaabasajja Kabaka.

Omulangira Luwangula agattako nti teri muntu yenna k’abe musawo wa kinnansi akkirizibwa kubaako mukolo gwa nnono gwakola nga obwakabaka bwa Buganda tebumuwadde lukusa. Bwatyo n’asaba abo abeenyigira mu bikolwa bino nti bakimanye batabangula Nnamulondo.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.