Abantu bana abateeberezebwa okuba ababbi bakwatiddwa e Nansana mu bikwekweto ebyakoleddwa Poliisi ng’eri wamu n’aba LDU.
Okusinziira ku Maj. Bilal Katamba, omwogezi wa LDU, ababbi bano baabadde balumbye ekifo ekimanyiddwa nga Nansana East II B zone gyebasangiddwa nga bagezaako okumenya ekizimbe.
“Abasirikale baffe basanze ababbi abo nga bagezaako okumenya ennyumba naye twabazinduukirizza netukwatako bana ku mukaaga,” Katamba bweyagambye.
Mu baakwatidwa era nga kati bali ku pollisi e Nansana kuliko, Richard Ssempijja, Alex Kwenda, Baker Kakooza ne Yasin Mutyaba.
Okusinziira ku Katamba, ababbi bano abaabadde ne nnyondo baabadde bagezaako kumenya kizimbe ky’omusuubuzi William Musoke.
Mu sitatimenti ye gyeyakoze eri poliisi, Musoke yagambye nti ababbi emirundi mingi bagezezzaako okumenya ekizimbe kye olw’okubulwawo obukuumi obumala wamu n’abavubuka bangi abataayaaya ku kyalo.
Katamba yalabudde abavubuka obutamala gatambulatambula naddala ng’obudde bwa kaafiyu butandise kubanga kiba kizibu okubaawula ku babbi.
Ababbi eb’enjawulo bakwatiddwa mu kaseera kano nga bagezaako okumenya amayumba g’abantu.
URN