Katikkiro Charles Peter Mayiga agambye nti ye ababbi b’ettaka tebamweraliikiriza kubanga akimanyi akaseera bwekanaaba katuuse baggya kulibaggyako. Bwabadde atikkula Oluwalo ku Bulange e Mmengo Mayiga ategeezezza nti ababbi b’ettaka tebayinza kulyetikka nebalitwala n’olwekyo lijja kuddira banyiniryo. “Bweppo nga ababba ettaka e Bugerere balyetikka nebaligya e Bugerere nebalikuba e Zaire. Bwaba taliiyo, tujja kulibagobako mu budde obutuufu. Waliyo ebibeeraliikiriza n’ensoberwa,” Mayiga bwagambye. Yagasseeko nti eyali omukelmbeze wa Uganda Apollo Milton Obote yagoba Kabaka mu Lubiri nafugisaawo emmundu naye kati nga lwaddira dda Ssabasajja Kabaka. “Ettaka ly’Obwakabaka lyonna yagamba nti lifuuse lya gavumenti. Amin yajjawo ettaka lya Mairo. Lwaki mweralikirira ebintu ebitalimu. Ekiriggwajjo tekitunuza ng’alira. Mwemumanye nti ettaka lyaffe, muwandiike bwino mubeere naye mujjakuba mulyawo ng’obudde bukedde nga ayababbako ettaka emisinde gyatwala mizibu,” Mayiga bweyategeezezza. Yasiimye nnyo abo bonna abaaleese oluwalo lweyayogeddeko nti lwabadde lusaanidde okufundikira enteekateeka y’omwaka. Oluwalo lwaleero luvuddemu 80,205,000/=, era nga luno lwerukyasinze bukyanga enteekateeka eno etandika. Mayiga yategeezezza nti bwebanamala okugatta byonna bajja kubuulira abantu ssaza ki erinywedde akendo mumwaka guno. Minisita omubeezi owa gavumenti ez’ebitundu Owek. Joseph Kawuki yayanjudde ebyavudde mu Luwalo era nasiima nnyo abo bonna abalina kyebawaddeyo okuddukirira emirimu gya Kabaka.
Bawaddeyo bwebati
Butambala 7,030,000
Singo 3,680,000
Bugerere 5.750,000
Bulemeezi 1.750,000
Sabagabo Kkakindu 1,200,000
Kyaddondo 57,685,000