![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2020/07/Abeesi-1024x576.png)
Abamu ku babaka ba Palamenti basabye gavumenti ekkirize abantu baddemu beetaaye naddala mu bisera bino ebya kalulu oluvannyuma lw’ekibiina ekiri mu buyinza ekya National Resistance Movement [NRM okugamba nti kigenda kulonda abanaakikwatira bendera nakusimba beesimbyewo mu mugongo.
Okusinziira ku kibiina kya NRM ekyafulumizza enteekateeka yakyo eggulo, akamyufu kaakyo kaakusimba mu mugongo abantu abamu kyebagamba nti kikontana n’enteekateeka ya tonsemberera gavumenti gyeyalangirira okusobola okiziyiza okusaasaana kw’ekirwadde kya coronavirus.
Ababaka eb’enjawulo bategeezezza nti NRM kyeyakoze kibeere ekyokulabirako nti webituuse abantu balina okuteebwa baddemu okukuba enkungaana z’ebyobufuzi.
Omubaka akiikirira ekibuga ky’e Bugiri Asuman Basalirwa agamba nti gavumenti erina okuleka abantu nebeeyagalira mu ddembe lyabwe okulonda abakulembeze nga babategedde.
Basalirwa agamba gavumenti erina okuvaayo n’amateeka aganaagobererwa mu nkungaana naye teyinza kuziwerera ddala.
Ate akulira oludda oluvuganya gavumenti mu palamenti Betty Aol Ochan yategeezezza nti abo bonna abanaasangibwa nga basimbye mu migongo gy’abantu balina okukwatibwa kubanga bajja kuba bagezaako kussa bulamu bw’abantu mu katyabaga.
Ono yagambye ekisobola okuwonya embeera eno kye kya gavumenti okujja eggwanga lyonna ku muggalo.
“Bwebaba nga ba minisita bebasinze okutyoboola ebiragiro bya gavumenti nga kati bakuba enkungaana, akaseera katuuse gavumenti eggye abantu ku muggalo,” Aol bweyagaambye.
URN