
Bya Ronald Mukasa
Lubowa – Busiro
Ababaka mu Palamenti abali ku ludda oluvuganya nga bakulembeddwamu abakulira, Rt Hon Joel Ssenyonyi, bagaaniddwa abeby’okwerinda okuyingira okulambula entambula y’emirimu mu kifo awalina okuzimbibwa eddwaliro ely’omulembe e Lubowa.
Ssenyonyi ateegezezza bannamawulire ku mulyango oguyingira mu kifo kino nti , babadde bazze okulondoola entambula y’emirimu ku kizimbe kino wabula abeby’okwerinda nebabategeeza nga bwebadde batakkirizibwa kuyingira mu kifo kino.
“Tuzze wano leero okukola ogwaffe era tulinda abakwatiibwako ensonga eno baggulewo tusobole okuyingira tumanye ekigenda mu maaso wano, bano abasirikale batekeddwa kukuuma mirembe n’okutuwa obukuumi, wabula ffe tetwetaaga bukuumi bwabwe naye bwebaba bagala baddembe okuyingira naffe balabe ebigenda mumaaso kubanga nabo bawa omusolo era eddwaliro lino lyakubaganyula” Ssenyonyi bw’annyonnyodde.
Ababaka bano batuuse e Lubowa ku ssaawa ttaano (5) ez’okumakya nga wano basanze abakuumaddembe abambalidde emmundu era wadde ono abadde agezaako okubanyonyola babadde tebaagala kumuwuliza.
kino kijjidde mu kaseera nga Palamenti yakayisa obuwimbi 2 n’obukadde 700 ez’okulondoola omulimu guno.
Enteekateeka z’okuzimba eddwaliro lino zizze zirabikiramu vvulugu mungi okumalira dala emyaka 5 bukyanga zitandika.
Ensimbi eziri eyo mu busse kamu n’ekitundu ( 1.5 trillion) ezomuwi w’omusolo zeezakasaasaanyizibwa mukuzimba eddwaliro lino yadde nga tewanabaawo kyamanyi kitukiddwako.









