• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Eby'obufuzi

Ababaka batabuse, ensisinkano yabwe ne Minisita Kataaha Museveni eyongezeddwayo

Gambuuze by Gambuuze
November 23, 2021
in Eby'obufuzi
0 0
0
Ababaka batabuse, ensisinkano yabwe ne Minisita Kataaha Museveni eyongezeddwayo
0
SHARES
60
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Francis Ndugwa

Kampala

Ababaka ba Palamenti batabukidde Minisita w’ebyenjigiriza n’ebyemizannyo, Janet Museveni ne bagaana eby’okumusisinkana ku kisaawe ky’e Kololo ate nga Palamenti weeri nga bagamba nti, kayinza okubeera akagenderere ne baminisita abalala ne bagaana okujja mu Palamenti singa babeera bayitiddwa.

Kino kiddiridde Sipiika Jacob Oulanyah okusaba ababaka okwetaba mu nsisinkano eno ne Minisita w’ebyenjigiriza, Janet Kataaha Museveni ku kisaawe e Kololo era n’asaba ababaka abatannaba kwegemesa kirwadde kya Corona okukikola. Olutuula luno lubadde lwakubeera lwa Palamenti era y’abadde ajja okubeera omukubiriza waalwo.

Kino kitabudde akulira oludda oluvuganya, Mathias Mpuuga Nsamba n’agamba nti yeewuunya ddi kino lwe kyatandise; entuula za Palamenti okutuula wabweru waayo ne zidda e Kololo. Ategeezezza nti kino kivvoola ekitiibwa kya Palamenti.

“Bwe tukola kino tuba tetugguddewo enkola  y’abaminisita  okugaananga  okujja mu palamenti batuyite okubasisinkananga  bo gye baagala.” Owek. Mpuuga bw’ategeezezza.

Ye omubaka wa Munisipaali y’e Mukono, Betty Nambooze agamba nti akalubizibwa okumanya oba bakolagana na mukyala wa Pulezidenti kuba ono bamuyise mu kakiiko akalondoola ebisuubizo bya gavumenti, n’agaana okulabikako.

Wano omubaka wa Munisipaali y’e Kira, Ibrahim Ssemujju Nganda ayanjizza ekiteeso ng’ayagala Palamenti ewalirize Minisita w’ebyenjigiriza n’emizannyo, Janet Museveni ajje mu palamenti gy’aba annyonnyolera ensonga ze kuba ky’ekifo ekimanyiddwa mu mateeka.

Ono agamba nti okubayita bagende e Kololo nga n’okukeberebwa bakebereddwa ekirwadde kya Covid-19, kuba kubayisaamu maaso na kunyomoola Palamenti, n’awa Sipiika Oulanyah amagezi aleme kubeera mu lutuula luno wabula asindikeyo Kamisona amukiikirire.

Ate ye Omubaka wa Kampala Central, Muhammad Nsereko awadde Minisita Janet Museveni amagezi abasisinkane ng’akozesa entimbe za Tekinologiya n’omutimbagano nga bulijjo bw’akola kuba singa ababaka bamusisinkanira wabweru wa Palamenti, kabeera kabonero kabi  nnyo.

Ye omubaka wa Kalungu West, Joseph Ssewungu asabye ssente ezibadde zigenda okusaasaanyizibwa ku lutuula luno ziweebwe amasomero zigayambe okuggulawo kuba abadde ekitegeddeko nti zino ziwera akawumbi akalamba.

Wabula bino Minisita w’ebyenjigiriza mu matendekero aga waggulu, John Chrysestom Muyingo abiwakanyizza n’ategeeza nti tewali nsimbi yonna gye bagenda kusaasaanya.

Gye biggweeredde nga Minisitule y’ebyenjigiriza n’ebyemizannyo ng’eyita ku mutimbagano gwayo ogwa Twitter, etegeezezza nti eyongezaayo  olutuula lwayo lw’ebadde etegese n’ababaka ba Palamenti mu kisaawe e Kololo olubadde olw’okubaawo enkya ku Lwokusatu nga 24, ng’olunaku olulala lujja kulangirirwa.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.