Bya Ssemakula John
Ssembabule
Ababaka ba Palamenti abava e Ssembabule balabudde gavumenti ne bannabyabufuzi ku kwawulamu Disitulikiti eno batondewo empya.
Kigambibwa nti waliwo ekibinja ky’abantu abaagala wateekebwewo disitulikiti empya gyebayita Lwebitakuli nga bagisala ku Ssembabule okusobola okutondawo ebifo eri abantu abamu.
Omubaka omukyala owa disitulikiti eno , Mary Begumisa nowa Mawogola South, Namugga Gorreth bagamba nti kikafuuwe kino tebagenda kukikkiriza.
Bano bwebabadde boogerako n’abatuuze ku Lwokusatu bategeezezza nti waliwo abatuula ekiro n’emisana okulaba nti eggombolola okuli; Lwebitakuli, Nakasenyi, Katwe, Matete Rural, Matete Ttawuni kkanso ne Mitete zifuulibwa disitulikiti.
Okusinziira ku Begumisa, ebizibu bye Ssembabule bibaddewo okuva disitulikiti lweyateekebwa 1997 era amagezi tegali mu kukutulamu disitulikiti.
“Ensonga z’okukutulamu disitulikiti yaffe! Nedda, nze mubaka omukyala owa disitulikit eno nga ezingiramu eggombolola 17, ng’omubaka, abalonzi bange baagala byampereza so si kusalamu disitulikiti. Ebintu nga enguudo, amasomero, amalwaliro byebirina okubaako essira si nsonga oba balina omubaka omu oba babiri,” Omubaka Begumisa bwe yannyonnyodde.
Ono yeewunya lwaki Ssembabule eyatondebwawo mu 1997 terina kitebe wadde eddwaliro eddene kyagamba nti kyongera okulaga obuzibu webuli.
Begumisa yalayidde nti wadde waliwo abali mu nkuubo nga banoonya bwebatondawo disitulikiti ye Lwebitakuli naye bakukola kyonna okugisimbira ekkuuli.
Kinajjukirwa nti Ssembabule yakutulwa ku Masaka mu 1997 okusobola okutuusa empeereza ku bantu naye bingi tebikolebwangako negyebuli eno.