Bya Ssemakula John
Kampala
Sipiika wa Palamenti ya Uganda, Rebecca Alitwala Kadaga, alagidde ababaka okuva mu bitundu ebyenjawulo okufulumya olukalala lw’abantu ababuzibwawo kuba gavumenti eremeddwa okulufulumya nga bwe yasuubiza.
Kino kiddiridde Sipiika Kadaga okulagira gavumenti Ssabbiiti ewedde okuleeta olukalala lwa bannayuganda abagambibwa okutwalibwa ab’ebyokwerinda era Minisita w’ensonga ez’omunda yabadde asuubirwa okwanjulira ababaka olukalala luno eggulo ku Lwokubiri, wabula ono teyalabiseeko.
Wano Omubaka wa Kalungu West, Joseph Ssewungu, yennyamidde olwa Minisita okulemwa okuleeta olukalala nga bwe yabadde asabiddwa.
“Owek. Sipiika, wasabye Minisita w’ensonga ez’omunda okuleeta olukalala lwa bannayuganda abaawambibwa mu kaseera k’okulonda. N’okutuusa leero tetulina kye twali tufunye okuva mu gavumenti. Owek. Sipiika bw’eba gavumenti eremeddwa, nze nsobola okuleeta olukalala lwe nnina.” Omubaka Ssewungu bwe yagambye.
Omubaka w’ekibuga ky’e Mukono, Betty Nambooze, yannyonnyodde nti abantu bangi bakyagenda mu maaso n’okuwambibwa mu ngeri etategeerekeka.
“Owek. Sipiika, Kizibwe wange Bukenya Victor abadde abuze okumala Ssabbiiti bbiri. Era waliwo n’abantu abalala bangi abongera okubuzibwawo. Sipiika nkusaba okkirize ababaka okuleeta okwemulugunya kwabwe mu Palamenti era wabeewo ekisalibwawo.” Nambooze bwe yategeezezza.
Mu kwanukula, Sipiika Kadaga yakkirizza ababaka abalina enkalala z’abantu okuzireeta basobole okuteeka Minisita w’ensonga z’omunda ku nninga asobole okunnyonnyola abantu bano gye bali.
Gye buvuddeko, Pulezidenti Museveni yavaayo n’ategeeza nti tewali muntu yabula wabula gavumenti yaliko abantu be yali ekutte ku mivuyo gya November 18 ne 19 oluvannyuma lw’abantu okwekalakaasa nga Bobi Wine akwatiddwa, nti ra bano balina obwegugungo bwe baali bategese ng’okulonda kuwedde.
Museveni yalagira amagye okufulumya olukalala lw’abantu abakwatiddwa, abantu baabwe basobole okumanya gyebali. Ssabbiiti ewedde, Poliisi yali erina okwanjula olukalala lw’abantu abakwate wabula amyuka omuduumizi wa poliisi, Maj Gen Paul Lokech, n’akisazaamu awatali kuwa nsonga yonna. Waliwo ebigambibwa nti ekikyagaanye poliisi okufulumya olukalala kwe kwagala okumanya embeera abakwate bye balimu naddala abali mu mikono gy’amagye.