Bya Ssemakula John
Kampala
Abamu ku babaka basabye gavumenti erowooze ku ky’okuliyirira abasawo bonna abafiira ku mirimu mu kaseera kano aka COVID-19.
Ababaka bano bagamba nti kino kijja kuzzaamu abalala amaanyi bafeeyo okutaasa obulamu bwa bannayuganda.
Bano baabyogeredde mu lukung’aana olw’awamu lwe baatuuzizza ku Palamenti ne basaba abeng’anda baweebwe obukadde 100 singa owooluganda lwabwe omusawo afa nga agezaako okutaasa obulamu bwa munnansi.
Kimanyiddwa nti okuva ekirwadde kya Ssennyiga Corona lwe kyalumba eggwanga, abajjanjabi bagaanibwa mu malwaliro era nga buli kimu ku mulwadde abasawo be bakikola.
Okusinziira ku bakugu, kino kyakolebwa okugezaako okukendeeza omuwendo gw’abakwatibwa ekirwadde kino.
Omubaka wa Kibuku, Herbert Kinobere, agamba nti kino kyayongera abasawo emirimu ate era ne kyongera ne ku mikisa gyabwe okukwatibwa ekirwadde kino.
Era okugezaako okukakasa kino, bano bannyonnyodde ng’ebibalo bya Minisitule y’ebyobulamu bwe biraga nti abasawo 50 be baamaze edda okuttibwa ekirwadde kino.
Kati Kinobere ayagala banne bamwegatteko basabe gavumenti eriyirire abasawo abafiira ku mirimu.
Ono n’ababaka abalala era basabye bannayuganda baleme kutabukira basawo wamu n’okuboogerera mu kiseera kino ekya COVID-19 kubanga eggwanga libeetaaga nnyo.
Abamu ku bantu nga bayita ku mutimbagano babadde batandise okwambalira abasawo olw’obutafa ku bantu naddala abaavu mu kiseera kino eky’omuggalo, ekivuddeko abamu ku balwadde okufiirwa obulamu bwabwe.