Bya Ssemakula John
Kampala
Ababaka mu Palamenti y’ e 11 bakuweebwa obukadde 200 buli omu basobole okugula emmotoka ezinabayamba okutambuza emirimu.
Kino kibikuddwa omwogezi wa Palamenti Hellen Kaweesa bw’abadde ku mukolo gw’okulayiza abamu ku babaka abanatuula mu Palamenti eno.
Ono ategeezezza nti ababaka bagenda kuweebwa obukadde 200 so si 321 ngq bwe byabadde bisoose okuyitingana.
“Ssente ziri obukadde 200 zokka buli mubaka basobole okugulamu emmotoka ensaamusaamu enabatambuza nga bakola emirimu gyabwe nga ababaka, kino kibagwanidde naye tukimanyi nti emmotoka empya za bbeeyi okusingako wano. Kale balina okukozesa ssente zino zisobole okubatuusa ku balonzi baabwe” Kaweesa bw’ategeezezza.
Kinajjukirwa nti mu mwezi gwa January, gavumenti nga eyita mu Minisitule y’ebyensimbi yavaayo netegeeza nga bwetaddewo obuwumbi bwa silingi za Uganda 165 okugulira ababaka emmotoka nga kino kyali kitegeeza nti buli mubaka wakufuna obukadde 321.
Zino omwezi oguwedde zasalibwako nezidda ku buwumbi 133.6.
Okusinziira ku Kaweesa ababaka bakusigala nga bateesezza mu weema era bakujja mu mpalo kuba tebasobola kukozesa kisenge kiteseebwamu akadde kano olw’ekirwadde kya sennyiga Corona.
“Babadde batuula mu mpalo nga buli lutuula lubaamu ababaka 100. Ababaka bano baweebwa ennambika okuva mu banampala era babategeeza buli wiiki,”Kaweesa bw’agambye.
Bino webijjidde nga ababaka bano abamaze okulayira bategeka okulonda Sipiika wabwe ku Mmande ya sabiiti ejja mu lutuula lwabwe olusooka e Kololo.