Musasi waffe
Ababaka ba palamenti baagala gavumenti erangirire nti olusoma lw’omwaka 2020 lufu olw’okweyongera kw’ekirwadde kya coronavirus mu ggwanga.
Bwebabadde boogerako n’ekibiina ekigatta abamyuka ba ssenkulu ba zissematendekero, ababaka ba palamenti abatuula ku kakiiko k’eby’enfuna byeggwanga, bagambye nti amasomero nebweganaaba gaguddewo, kijja kuba kizibu okumalayo ebyo byonna byebaalina okusomesa omwaka guno.
Omubaka akiikirira ekibuga ky’e Arua Kassiano Wadri, yategeezezza nti okukkiriza abayizi abali mu bibiina byakamalirizo okuddamu okusoma nakyo kirina obuzibu kubanga abali mu bibiina birala tebajja kusobola kugenda mubibiina biddako ekijja okuleeta akalippagano mu by’ensoma.
Ono era agattako nti n’abaana abasoma okuyita ku mitimbagano kijja kuba kizibu okumanya butya bwebasomye kubanga sibonna nti balina emikisa gyegimu.
Ono kyeyavudde asaba gavumenti okusalawo nti omwaka guno gutusaze eby’okusoma biddemu gujja.
Ate ye omubaka w’essaza ly’e Kasilo Elijah Okupa agamba gavumenti yeerabire eby’okusoma omwaka guno etandike kwetegekera gujja.
Ono yagenze mumaaso n’ategeeza nti gavumenti nebweba ekkiriza amasomero okuggulawo, ye tajja kutwalayo baanabe olw’okutya okukwatibwa ekirwadde kya ssenyiga omukambwe.
Okupa yagasseeko nti newankubadde kirungi abazadde okusasula ebisale by’essomero, ekisinga obulungi kati kwekuuma abaana nga balamu.
Ate omubaka w’essaza ly’e Aswa Reagan Okumu yeebuuzizza oba kinaasoboka okussa mu nkola amateeka ga tonsemberera olw’omujjuzo oguli mu bibiina wamu n’ebisulo by’abaana.
Akulira akakiiko kano, omubaka Syda Bbumba, agamba kyabulabe okuggula amasomero mukadde kano.
URN