Bya Jesse Lwanga
Mukono – Kyaggwe
Ababaka abalonde mu ssaza ly’e Kyaggwe, basisinkanye omwami wa Kabaka atwala essaza lino, Ssekiboobo Elijah Bogere Lubanga Mulembye, okutema empenda ku ngeri gye basobola okukulaakulana n’okuzza ekitundu kyabwe ku ntikko.
Abakiise embuga kuliko; Fred Kayondo owa Mukono South, Fred Ssimbwa okuva mu ssaza lye Nakifuma, Abudallah Kiwanuka mu Mukono North , Anifah Nabukeera omubaka omukyala owa disitulikiti y’e Mukono.
Abalala kuliko; Dr. Lulume Bayiga owa Buikwe South , Jimmy Lwanga owa Njeru Municipality ne Stephen Sserubula wa Lugazi Municipality. Bonna wamu basiimye Ssekiboobo era ne yeeyama okutumbula essaza lino.
Bano Ssekiboobo yabasabye okukulembezanga ensonga za Buganda mu lukiiko lw’eggwanga, basobole okuganyula abalonzi baabwe kuba Beene tasosola mu bantu be.
Ono yabategeezezza nti omubaka yenna anaatuuka mu lLukiiko lw’eggwanga n’ava ku nsonga za Buganda, nabo ng’abatwala essaza lino, bagenda kumusimbira ekkuuli ng’akomyewo okunoonya akalulu mu bannakyaggwe.
Ababaka bano baalonze obukulembeze bwabwe mwe bagenda okwegattira n’okutambuza ensonga za Kyaggwe n’Obwakabaka. Akakiiko akaatondeddwawo kagenda kulemberwa Dr. Lulume Bayiga owa Buikwe South amyukibwe Betty Nambooze Bakireke omubaka w’ekibuga ky’e Mukono.
Wabula obwedda bano bateesa nga kabangali za poliisi zirawuna ekitundu kyonna okutegeera ekigenda mu maaso.