Bya Musasi Waffe
Kampala
Abaana abawerera ddala 3,636 be bazaaliddwa ku lunaku olusooka omwaka olwa January 1 2021 okusinziira ku kibiina ky’amawanga amagatte ekikola ku baana, ekya ‘United Nations Children’s Fund (UNICEF).
Abakugu ba UNICEF bannyonnyodde nti omuwendo gw’abaana abazaaliddwa gwesaze ebitundu 7.26 ku buli 100 bw’ogeraageranya n’olusooka lw’omwaka oguwedde olwalina abaana 3,900.
UNICEF egamba nti ekitundu ku baana abazaaliddwa ku lusooka mu nsi yonna bali mu mawanga 10 okuli; India (59,995), China (35,615), Nigeria (21,439), Pakistan (14,161), Indonesia (12,336), Ethiopia (12,006), Amerika (10,312), Egypt (9,455), Bangladesh (9,236), ne DR. Congo (8,640).
Enteekateeka za UNICEF munda mu Uganda wakati wa 2021-2025 ziraga nti essira baakwongera okuliteeka ku kuyamba abaana abasoomoozebwa obulamu.
Abaana abazaalibwa mu Uganda bajja kuba bakola obutundutundu 0.9 ku buli 100 ku baana 371,504 ku baana abazaalibwa ku Lusooka omwaka era nga bano basuubirwa okuwangaala okutuuka ku myaka 74.
“Omwaka oguwedde gubadde mukalubo eri ffenna, era ndowooza nti teri ngeri ya kugwerabira eyinza kusinga kwaniriza abaana abato abazaaliddwa mu nsi,” Laura Siegrist Fouché, atwala ekitongole kya UNICEF mu Uganda mu kaseera kano bw’agambye.
Ono asabye abantu okwerabira okusoomoozebwa okubadde mu 2020 naye bakozese emikisa egiri mu 2021 basobole okukyusa ensi nga batandika n’olwaleero.
Kinajjukirwa nti mu mwaka guno ogwa 2021, ekitongole kya UNICEF lwe kigenda okuweza emyaka 75 bukyanga kitondebwawo okusobola okukuuma abaana naddala abalina okusoomoozebwa okwentalo, endwadde wamu n’okusosolwa mu nsi yonna.
Okusinziira ku biriwo mu nsi yonna obwavu obweyongera wamu n’enjawulo ey’amaanyi wakati w’omugagga n’omwavu, emirimu gy’ebitongole nga UNICEF gyetangibwa nnyo naddala mu nsi ezikyakula.