Bya Ssemakula John
Kampala
Abaami ba Kabaka abakulembera amasaza ag’enjawulo basisinkanye okutema empenda ku ngeri gye basobola okukuumamu ettaka lya Buganda okulitaasa ku bannakigwanyizi abaagala okulibba ng’abamu baatandika dda n’okulyesenzaako.
Bano ensisinkano yaabwe yabadde ku mbuga y’essaza lya Busiro e Ssentema mu Wakiso ku Mmande era baasoose kulambula ennyumba z’Obwakabaka ezizimbibwa eza Mirembe Estate era olukung’aana luno terwakkiriziddwamu bannamawulire wadde oluvannyuma abakulu baatusunidde ku ebyo bye bateesezzaako.
Omwami wa Kabaka akulembera essaza lya Busiro, Ssebwana Charles Kiberu Kisirinza ategeezezza nti abantu ba Kabaka yonna gye bali anti balina okukuuma ettaka kuba Buganda kw’eyimiridde nga weritali ne Buganda tebeerawo.
“Ettaka lyonna gye liva lyenkana kasita liba nga teririna kikolebwako, abatandika okulitunuulira beeyongera. Naye enkola ey’okukuuma ettaka olina okuba ng’olina by’okolerako ng’okuzimbako ebizimbe abantu ne batandika okubibeeramu ate nga bisobola n’okukuwa ensimbi.” Ssebwana Kiberu bwe yannyonnyodde.
Ssentebe w’olukiiko olukulembera ab’amasaza bano, Ppookino Jude Muleke yagambye nti, “Ensonga enkulu ezituleese kwe kuba nti obukulembeze bwaffe ng’abakulira ab’amasaza buweddeko. Kale tuzze okukubiriza bannaffe balonde bannaabwe abagenda okubakulembera kuba ffe tetulwa mu buyinza kuba ekisanja kiba kya myaka ebiri. Ekirala kwe kwekubamu ttooci tulabe ebitulemeredde n’engeri gye tusobola okubivvuunuka.”
Ppookino Muleke yalambulidde nga bwe baliko enteekateeka gye bataddewo okulaba ng’amasaza gonna gakulaakulana gasobole okuweereza abantu ba Kabaka obulungi.
Ye akulembera essaza lya Kyaddondo, Kaggo Agnes Kibirige Nampa yasabye abakulembeze okukoma ku bantu abeetundako ettaka era n’abaligula bakomye okulisalaasalamu obupoloti obutono ennyo kuba kino kizing’amya enkulaakulana.