• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Mulambule abantu ba Kabaka yonna gye bali – Katikkiro

Gambuuze by Gambuuze
April 21, 2026
in Amawulire
0 0
0
Mulambule abantu ba Kabaka yonna gye bali – Katikkiro
0
SHARES
0
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Miiro Shafik

Mmengo – Kyaddondo

Abantu ba Kabaka okuva mu ggombolola 5; Ssaabaddu Ntenjeru – Kyaggwe, Ssaabagabo Ssekanyonyi – Ssingo, Mut. XII Muwanga – Ssingo, Mumyuka Lwemiyaga – Mawogola ne Mut. XII Bukulula – Buddu. Bano bakiise wamu n’abe ssaza Busia, Tororo, Malaba n’essomero Disney Junior & Day Care Center.

Ku lwa Katikkiro Charles Peter Mayiga, Minisita Hajj Amisi Mukasa Kakomo y’atikudde oluwalo era mu bubaka bwe, yebazizza Obuganda bwonna obwajjumbira enteekateeka zonna ez’okujaguza amazaalibwa ga Kabaka n’enteekateeka z’Obwakabaka zonna okuli n’eyoluwalo. “Obuwagizi bwammwe bwe busobozesa Gavumenti ya Kabaka okuteeka byonna by’ekola mu nkola, mmwebale nnyo” Minisita Kakomo.

Owek. Kakomo akubirizza abaami ba Kabaka okwongera okulambula abantu ba Kabaka okubazzaamu amaanyi n’okubakubiriza okugoberera byonna ebifa Embuga n’okwetaba mu nteekateeka z’Obwabakabaka zonna.

“Abaami ba Kabaka mbasaba mwongere amaanyi mu kulambula abantu ba Ssaabasajja Kabaka nga mubakubiriza okulima emmwanyi ssaako n’emmere etumala, abantu ba Kabaka baleme kubeera mmombozze mu Nsi yaabwe, okulambula abantu baffe kituyamba okumanya embeera abantu baffe mwe bali, enkola eno ey’okulambula tugikoppe ku Ssaabasajja Kabaka bwe yagenze n’alambula ku musajja we Omutaka Nadduli Kibaale mu ssaza ly’e Kyaddondo mu ggombolola ya Ssaabawaali e Gombe” Minisita Kakomo.

Minisita Kakomo ayongedde okukubiriza abantu ba Kabaka okusitula omutindo mu nnyingo zonna omukaaga nge bwe zaalambikiddwa Obwakabaka; okutumbula ebyobulimi, obusuubuzi n’emirimu emirala abantu gye bakola, ebyobulamu, ebyenjigiriza, embeera z’amaka n’ebitone. Abasabye bino byonna babikolere ku mutindo basobole okugatta ku kuzza Buganda ku ntikko.

Owek. Kakomo ku nsonga y’okufunira abantu ba Kabaka obutale ategeezezza nti abantu ba Kabaka kiringi bettanire obutale bwa Kabaka basobole okufuna mu birime bye balima ensimbi ezeegasa. Akubirizza abalimi obutassa mukono mu kulima emmwanyi n’ebirime ebirala.

Ye Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu mu Buganda Owek. Joseph Balikuddembe Kawuki yebazizza nnyo Obuganda bwonna olw’okwetaba mu kujaguza amazaalibwa ga Kabaka ag’emyaka 71 naddala emisinde gy’Amazaalibwa ga Nnyinimu. Ono yebazizza Hon. Kiruluuta olw’okuba nti ye mubaka akyasinze okukiika Embuga emirundi emingi. Ategeezezza nti abantu okukiika embuga kyongera okulaga okuyaayana kwabwe okuwagira emirimu gy’Obwakabaka.

Minisita Kawuki alabudde abazadde ku kiseera ky’oluwummula ekisembedde bafeeyo nnyo okugunjula abaana basobole okuvaamu abantu ab’omugaso era bamaleko bulungi emisomo.

Minisita Kawuki ayongedde okutuusa okusaasira kw’Obwakabaka eri abantu abafiiriddwako abaabwe naddala Hon. Nakimuli Helen gw’agambye nti abadde mujjumbize nnyo mu mirimu gy’Obwakabaka, kuno agasseeko ne Prof. JC Ssekamwa abadde ow’amaanyi ennyo mu kuwagira emirimu gy’Obwakabaka naddala abavubuka aba Nkobazambogo ku Ssettendekero Makerere.

Fred Katende ng’ono ye mumyuka owookubiri owa Ssekiboobo y’akiikiridde Ssekiboobo Vincent Matovu okukulemberamu abakiise Embuga leero, ono ategeezezza nti newankubadde mu bakiise Embuga kuliko abaddiridde mu kukunganya oluwalo, naye agamba nti waliwo okugenda mu maaso. Ono asabye bonna abakiise okufuba okulwana nga eggombolola eziva mu Buddu nabo okulaba nga bongera okulinnyisa ensimbi ezireetebwa. Ono naye aggasse eddoboozi lye ku nsonga y’okulaba nti abantu abakola emurimu gyabwe abagobaganyizibwa we bakolera bataasibwa ku mbeera eno.

Yusuf Kiruluuta Nkerettanyi ku lwa bannabyabufuzi abakiise Embuga leero aloopedde Katikkiro nti ensangi zino abantu basuddewo nnyo olulimi lwabwe oluzaaliranwa, ono asabye ne newankubadde amasomero gasomesa baana nnimi z’e Bulaaya naye basaana okuleka abaana okuyiga n’okutegeera olulimi lwabwe, ono aloopye n’embeera y’abantu abataakyatuuma baana mannya ga kika n’abagavumirira.

Hon. Nkerettanyi alaze obwennyamivu olw’ebyo ebigenda mu maaso mu ggwanga omuli, okugobaganya abasuubuzi we bakolera mu bibuga byonna okwetoolola eggwanga, akonye ne ku nsonga y’ebbago lya ‘Sovereignty bill’ ng’agamba nti ligenda kukosa nnyo abantu naddala abagenda mu mawanga ag’ebweru, ono aweze nti baakulwana okulaba nti abantu ba Kabaka babaweereza bulungi n’okubataasa okukosebwa ebyo ebireetebwa abali mu buyinza nga binyigiriza abantu.

Owek. Joseph Ssenkumba ng’ono ye mwami wa Kabaka amulamulirako essaza lya Busia, Tororo, Malaba ategeezeza nti abantu ba Kabaka ebweru wa Buganda banyiikivu mu kukola nti newankubadde tebalima mmwanyi eri gye bali, naye bajjumbira emirimu egy’enjawulo. Ono era asabye baweebweyo ettaka wano mu bitundu bya Buganda basinziire gye bali okuvujjirira okulima emmwanyi nabo bongere okuganyulwa mu kaweefube ono abantu ba Buganda gwe baganyuddwa ennyo. Ono ayanjudde ensimbi obukadde 4 n’okusoba ezivudde mu Ssaza ly’akulembera.

Abaami b’eggombolola baloopye Embuga ensonga ez’enjawulo omubadde okweyanza Kabaka olw’enteekateeka z’ayongedde okuteekako amaanyi mu kukulaakulanya abantu be, bategeezezza nti abantu ba Kabaka bajjumbidde bulungi emisinde gy’amazaalibwa ga Kabaka, banjudde n’ebibasoomooza omuli abantu ababagobaganya ku ttaka, abagoba abantu mu bifo we bakolera nga kwe batadde n’okuboononera ebizimbe n’ebyamaguzi byabwe, basabye n’Obwakabaka okwongera okuzigirira abantu ba Kabaka obutale bw’ebyo bye balima, abalimi basobole okufuna ensimbi.

Ensimbi obukadde ana n’okusoba (40,115,000/=) ze zireeteddwa abantu ba Buganda abakiise Embuga leero.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.