Musasi waffe
Omusomo ku kulwanyisa obutabanguko mu maka gukomekkerezeddwa e Kasangati mu Kyaddondo. Bwabadde aguggalawo, omumyuka w’omwami w’essaza Kyaddondo, Hajji Ahmed Matovu Magandaazi, asabye abazadde obutayanja nsonga za mukisenge nga abaana baabwe balaba. Agamba nti omwana bwalaba ebikolwa bwebiti, bimuleetera okwennyamira n’ekimuviirako okukula nga mwennyamivu mu mutima ekintu ekiyinza okwonoona ebiseera bye eby’omumaaso. Kamisona mu minisitule y’ekikula ky’abantu mu Gavumenti ya wakati, Innocent Byaruhanga, asabye abeetabye mu musomo okubeera eky’okulabirako mu bitundu gyebabeera, bongere okubunyisa enjiri ey’okukomya okutulugunya abaana, abazadde bakitwale nti buvunaanyizibwa bwabwe okufaayo eri abaana baabwe. Omusomo gumaze ennaku bbiri nga guyinda e Kasangati n’ekigendererwa ky’okubangula abaami ba Kabaka ku ngeri y’okulwanyisa obutabanguko mu maka, gwagguddwawo Minisita w’enkulaakulana y’abantu mu bwakabaka Owek Dr. Prosperous Nankindu Kavuma, ono essira yalitadde ku ky’okulaba nga buli muntu yenyigiramu mu lutalo lw’okulwanyisa obutabanguko mu maka. Abaami abeetabye mu musomo guno baweereddwa ebbaluwa ezibasiima.