Bya Musasi Waffe
Abaami abaamasaza n’Abamyuka baabwe, baweze nga bwe bamaliridde okwongera okusitula omutindo gw’obuweereza mu Gavumenti ez’Ebitundu ze bakulembera mu Bwakabaka, kisobozese Buganda okudda ku ntikko n’abantu b’Omutanda okukulaakulana.
Bano okuwera bwe bati babadde mu nsisinkano ne Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku gavumenti ez’ebitundu mu Bwakabaka, Owek. Joseph Kawuki ku mbuga enkulu mu Bulange – Mmengo ku Lwokubiri.
Mu kwogera kwe, Minisita Kawuki abakubirizza okunyweza obwasseruganda basobole n’okukolera awamu era kibayambe okweyigirako awamu n’okusobola okuvuganyiza mu mukwano bwe baba baakusitula empeereza mu bantu ba Ssaabasajja Kabaka ne Buganda.
Owek. Kawuki abasabye okulambika obulungi abaami be batwala mu masaza gaabwe era bakole enteekateeka esobola okumanyisa abantu ba Kabaka mu budde ku nteekateeka zonna eziri mu Bwakabaka era basobole okuzeetabamu ssaako okuziganyulwamu.
Minisita Kawuki era abasabye okunyiikira okukola alipoota eziraga enzirukanya y’emirimu gyabwe na buli nsonga ebeera eggusiddwa, kiyambeko okutumbula obwerufu n’okulondoola ebyo ebibeera bikyalimu okusoomooza wakati nga baweereza abantu ba Kabaka.
Ku by’obulamu, abasabye okukunga abantu ba Beene okwongera okwetangira ekirwadde Lumiimamawuggwe era bakubirize n’abantu okulwanyisa Mukenenya, kuba abantu abajja okusobola okuzza Buganda ku ntikko, balina kubeera balamu.
Abaami bano baweereddwa kkompyuta Ssaabasajja Kabaka ze yabawadde okwongera okutumbula empeereza n’ezirukanya y’emirimu mu masaza gano, era zino mu bwangu zigenda kuyungibwa ku mutimbagano gwa Yintaneeti, okwanguya emirimu.