Bya Ssemakula John
Kampala
Ekiwayi kya kkooti y’ebyobusuubuzi mu kkooti enkulu etudde leero mu Kampala, kiragidde omusuubuzI, Apollo Senkeeto n’abalala bataano, okusesema ssente ezisoba mu buwumbi 20 baziddize ekitongole kya Uganda National Roads Authority (UNRA), olw’okulemwa okukola oluguudo lwa Kyetume – Katosi.
Oluvannyuma lw’okuzuula vvulugu mu buwumbi 24.7, alipoota eyafulumizibwa yalaga nti omulimu ogwakolebwa gwali gwa bitundu 3 ku buli 100 nga gwe gwokka ogwali gukoleddwako, we gwayimiririra.
Kyazuulibwa nti kkampuni y’empewo eya EUTAW olwafuna omulimu guno ate kkontulakiti n’egiwa kkampuni y’abachina eya CICO Construction Corporation, eyakola omulimu mu ngeri ya gadibengalye.
Kino kyawaliriza aba UNRA okuddukira mu kkooti mu 2016 ne basaba kkooti eragire Senkeeto, Tim Mackoy, Richard Pratt, Michael Olvey, Niu Hong n’aba EUTAW Construction Company, okusesema obuwumbi 18.6 bwe baali tebannakozesa.
Leero ku Lwokuna, akulira kkooti eno, Omulamuzi Henry Peter Adonyo, ategeezezza nti Senkeeto ne banne awamu ne kkampuni eno eya EUTAW, beekobaana nebafera gavumenti era nga tewali mulimu gwakolebwa ku luguudo lwa Kyetuma -Katosi wadde nga ssente zaabaweebwa.
“ Bwali bufere obwagendererwamu kufuna ssente okuva ku muwaabi (UNRA),” Adonyo bw’agambye.
Omulamuzi Adonyo agambye nti olwokuba bano omulimu gwe baakolako gwa bitundu 3 ku buli 100, nga gubalirirwamu obuwumbi 6 bwokka, balina okuzza ssente endala zonna kubanga tebaazikozesa.
Adonyo era alagidde abantu bano abataano wamu ne kkampuni yaabwe nti balina okusasula ssente obukadde 500 ezisaasaanyiziddwa mu musango, akawumbi kalamba nga ka kuliyirira aba UNRA. Era nga ssente ze balina okuddiza UNRA, zigenda kuzaala amagoba ga bitundu 10 ku buli 100 ku buli mwaka oguyitawo okutuusa ssente zonna lwe ziriggwaayo nga kino kitandikiddewo.
Mu 2018, kkooti ewozesa abakenuzi mu Kampala yasingisa abantu basatu okwali Senkeeto, omusango gw’okwefuula kye batali ne bafuna ssente, okujingirira ebiwandiiko wamu n’okwekobaana ne bafera ssente obuwumbi 24 ku pulojekiti ya Kyetume – Katosi mu mwaka gwa 2013.
Senkeeto kkooti yamusiba emyaka 10 wabula n’ayimbulwa ku kakalu ka kkooti oluvannyuma lw’okujulira era n’asaba okweyimirirwa.