Bya Jesse Lwanga
Abavubuka bataano abagambibwa okuwambibwa emyezi ebiri emabega ng’eggwanga ligenda okulonda bamaze ne bazuulibwa nga babasudde mu bibira by’e Masaka. Kino kiddiridde ab’enganda z’abavubuka abawera 15 okutandika okwekalakaasa nga babanja abavubuka bano.
![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2021/02/IMG-20210212-WA0088.jpg)
Bano kuliko; Kiberu Julius‚ Kagimu Twaha ddereeva wa taxi e Kabembe‚ Mukasa Juma ne Naheru Mohamed era bano bonna tubasanze ku kyalo Kabembe mu ggombolola y’e Kyampisi mu Mukono.
Abavubuka bano balumiriza okukwatibwa abasajja abaalina emmundu era nga bano babalagira okulinnya emmotoka era bwe batyo ne batwalibwa mu bifo bye tamanyi wakati mu kutulugunyizibwa n’okubwa emiggo.
Ye Kiberu Julius agamba tagenda kwerabira engeri gy’abadde aliira ku muguwa ng’embuzi nga kw’otadde n’omusiba akakookolo okumala emyezi ebiri. Ono agamba nti wakati mu kutulugunyizibwa yafuna n’olubale ku mutwe era awulira obulumi bungi.
Balumiriza nti waliwo ekizimbe mwe babadde bakuumirwa era mulimu n’abantu abalala abasoba mu ana (40) era ng’ekifo kino kitiisa olw’emiranga egikwaniriza ng’otuuseeyo.
Bano bagamba nti baabavuze mu kiro ku ssaawa nga 8 ez’ekiro ne babasuula mu bibira ebyenjawulo mu Masaka era bwe batyo baatandise okutambula ekiwalazima okutuusa lwe bafunye ababayamba.
Ssentebe w’ekyalo Kisowera, Abbey Bitwaalo, agamba nti abavubuka bangi baawambibwa olw’enjawukana mu ndowooza z’ebyobufuzi nga kino kyalabikira nnyo mu kitundu kya Mukono North era naye yafuna abaamutiisatiisa.
Ono asabye abali ku gw’okuwamba abantu bwe baba baliko omusango gwe bazza, batwalibwe mu kkooti oba si kyo bayimbulwe kuba eggwanga lyonna balitadde ku bunkenke.