Bya Ssemakula John
Kampala
Kkooti ensukkulumu mu Kampala ekkaatirizza ekibonerezo ky’emyaka 20, kkooti erwanyisa obulyi bw’enguzi kye yawa abasajja abaakwatibwa nga bagezaako okuyita ku mutimbagano babbe ssente eziwera obuwumbi 2.4 okuva mu kitongole ekisolooza omusolo ekya Uganda Revenue Authority (URA).
Abasajja bano; Nsubuga Guster ne Byamukama Robinhood baakwatibwa mu mwaka gwa 2012 oluvannyuma lw’okunoonyereza okwalaga nti baagezaako okuyingira mu byuma by’ekitongole kino ebya ‘Automated System for Customs Data (ASYCUDA).’
Bano baaluka olukwe okulaba nti emmotoka 150 zifuna ennamba awatali kusasula musolo mu bbanka kyokka nga waliwo lisiiti ezaaweebwayo mu URA okuyingiza emmotoka zino, zonna zaali njigirire.
Mu 2013, baasimbibwa mu kkooti ewozesa obukenuzi era ne bavunaanibwa emisango okuli; okuyingira mu kompyuta za URA, obufere n’okubbira ku mutimbagano awamu n’okuyingira mu byuma by’ekitongole ne basomola ebyama byakyo awatali lukusa.
Bano baasingisibwa emisango okuli; okukola, okutunda, okugula awamu n’okusangibwa ne pulogulaamu za kompyuta ezisobola okuyingira mu kompyuta z’ekitongole n’okubbayo ebyama, ekintu ekikontana n’akawaayiro 12(3) ne 20 ak’etteeka lya Computer Misuse Act, 2011.
Kkooti ewozesa obukenuzi bano, buli omu yamusiba emyaka 20 awamu n’okutanzibwa ddoola 4500 buli omu.
Wabula bano baddukira mu kkooti ejulirwamu era ne baddamu okuwozesebwa naye ekitongole kya URA tekyamatira ku ebyo ebyasalibwawo era ne kisalawo okujulira mu kkooti ensukkulumu.
Ku Mmande, Kkooti ensukkulumu yawagidde ekya bano okusibibwa emyaka 20 buli omu oluvannyuma lw’okukkaanya ne URA nti buli kimu kyagobererwa nga bano baweebwa ekibonerezo.
“Ennoongosereza ezaakolebwa (Anti-Corruption Court) tezirina bwezakyusa nnaku z’omwezi wadde ebikulu ebyali mu musango guno, tekikola makulu okusazaamu omusango guno olw’ennoongosereza.” Kkooti ya Ssemateeka bwe yategeezezza.
Kkooti ensukkulumu yaggumizza ekibonero ky’emyaka 20 eri abasajja bano oluvannyuma lw’okusibwa emyaka 12 ne 8 ku misango gyonna era ng’ekibonerezo balina kukikola lumu.
Wabula bano kkooti ebaggyiddeko emyaka gye bamaze ku alimanda nga kati buli omu agenda kusibwa emyaka 10.