Bya Francis Ndugwa
Obulabirzi bwa West Buganda bulagidde abantu abakuze mu myaka basooke beesonyiwe eby’okugenda mu kkanisa naye basabire awaka, okusobola okwewala okukwatibwa Ssennyiga Corona.
Kino kiddiridde Pulezidenti Yoweri Museveni okuggulawo amasinzizo wabula n’alagira abakulira amasinzizo okukkiriza abagoberezi 70 bokka mu buli kusinza.
Okusinziira ku kiwandiiko ekiriko omukono gw’omuwandiisi w’Obulabirizi bwa West Buganda, Reverend Canon Samuel Mwesigwa, agamba nti amakkanisa gagguddwa naye abakadde bagira balinzeemu okudda mu kkanisa.
Rev. Mwesigwa annyonnyodde nti ekiragiro kino kizingiramu ekkanisa zonna 521 mu Disitulikiti 9 ezikola obulabirizi buno.
Ono agasseeko nti kino bakikoze olw’ensonga ekirwadde kya Ssennyiga Corona kisinga kukosa bantu bakuze mu myaka, agamba nti bakimanyi nti kigenda kukaluubirira abagoberezi abamu naye ensonga eno yabulamu n’akufa.
Rev. Mwesigwa era abawadde amagezi obutagabana butabo bwa ssaala era bafube okulaba nga n’abantu abawangaala n’ebirwadde ebyenjawulo nabo basabira awaka.
Ono era agamba nti enkung’aana z’ebyobufuzi mu kkanisa munda nazo ziwereddwa era abakulira amasinzizo gano balina okufuba okulaba ng’abantu bagoberera amateeka gonna agaateekebwawo okuziyiza ekirwadde kino.
Abakulisitaayo abakuze mu myaka basabiddwa okweyambisa emikutu gya ttivvi ne leediyo wamu n’okusaba okw’omuntu ssekinnoomu.