• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Agafa e Mengo

Aba Wells of Life bakiise Embuga, Kamalabyonna Mayiga abeebazizza okubunyisa amazzi amayonjo

Gambuuze by Gambuuze
March 3, 2023
in Agafa e Mengo
0 0
0
Aba Wells of Life bakiise Embuga, Kamalabyonna Mayiga abeebazizza okubunyisa amazzi amayonjo
0
SHARES
26
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Bulange – Mmengo

Obwakabaka bwa Buganda bwongedde okuggumiza okubangawo enkolagana naba Wells of Life ngabano bebabukwasirizaako okuzimba enzizi mu bitundu bya Buganda ebitali bimu amazzi amayonjo.

Ensisinkano eno eyindidde mu Bulange e Mmengo ku Lwokutaano nga aba Wells of Life babadde bakulembeddwamu  Max Ssekiwala memba wa Bboodi, Amyuka akikulira Charlie Hudges, owa Uganda Adrian Laurentiu nabalala.

“Tusiima emirimu egikolebwa aba Wells of Life naddala okukyuusa embeera z’abantu mu Uganda naddala nga bafuna amazzi amayonjo.  Abasawo batugamba nti endwadde 70 ku 100 ezitawaanya abantu abaavu ziva ku byabuyonjo era kino kikwatagana n’amazzi nga bagakozesa okunaaba mu ngalo oba okuganywa,” Owek. Mayiga bw’agambye.

Owek. Mayiga era asinzidde wano nategeeza nti wadde gavumenti ereese enteekateeka ez’enjawulo okuyamba abakaramoja naye kyebasinga okwetaaga ge mazzi kuba ekyeeya kibayisizza ddala bubi era oluvannyuma lw’okufiirwa ente mu kyeeya basalawo okubba eza bannabwe.

Mukuumaddamula Mayiga agasseeko nti kituufu amazzi bwebulamu era kino ky’obugagga ekisinga omugaso Katonda kyeyawa ensi bwatyo neyeebaza aba Wells Life olw’obuweereza buno.

Ono agamba nti kiswaza okulaba nga Uganda terina mazzi mayonjo kyokka nga buli lw’otambula osanga emigga n’ennyanja era kyoba olina okukola okugatuusa ku bantu kibeera kitono nnyo.

Oweek. Amis Kakomo, avunaanyizibwa ku nteekateeka eno agambye nti basimye enzizi ezisoba mu 700.

Eyakulembeddemu bano era mmemba wa Bboodi ya Wells of Life, Fr. Max Ssekiwala  agamba nti enteekateeka eno kati ekutte ku bantu bangi mu America era bewaddeyo nnyo ku nteekateeka eno bwatyo neyebaza olweddoboozi lya Kabaka ngobubaka bwe tebwawukanye nnyo nobwamyuka akulira ekitongole kino Charlie Hedges.

Omukago guno gwatandika mu mwaka gwa 2016 kyokka nga tewali kwejjusa eri abantu abatuukiddwako mu nteekateeka yokufuna amazzi amayonjo, obwakabaka gyebwagala yeyongereyo emyaka emirala.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist