
Bya Shafik Miiro
Bulange – Mmengo
Bannamukago mu nteekateeka y’ emisinde gy’ Amazaalibwa ga Kabaka (Kabaka Birthday Run) aba Vision Group bakwasiddwa emijoozi gyebagenda okuyambako okutunda n’ okugisembereza abantu ba Kabaka.
Bw’ abadde abakwasa emijoozi gino, Omumyuka Asooka owa Katikkiro Owek. Prof. Twaha Kaawaase Kigongo ategeezezza nti waliwo abantu abalinda essaawa esembayo ne baseera emijoozi, kino agambye nti si kirungi n’akatono asabye abakikola okukikomya. Kyokka akubirizza abantu okugula emijoozi mu budde okwewala embeera eno.
Akulembeddwamu aba Vision Group Omuky. Phiona Tamale ategeezezza nti emijoozi bagenda kugitundira ku woofiisi zaabwe mu Industrial Area ate balina n’enteekateeka okugituusa ku bantu yonna gye babeera ne gye bakolera.

Kitegeerekese nti emijoozi gy’emisinde gyongedde okusaasanyizibwa mu bitundu eby’enjawulo okusobozesa abantu okugifuna mu budde, ate abaagala okugula mu bungi gisangibwa ku Bulange e Mengo.

Buli mujoozi gugulwa emitwalo ebiri gyokka (20,000) ate nga emisinde gyakubaayo nga 06/04/2025.
#KabakaBirthdayRun2025
#KabakaMutebiAt70