UNAIDS esanyukidde obubaka bwa Kabaka bweyawadde mu kukuza olunaku lwa Bulungibwansi ne Gavumenti ez’ebitundu
Abakungu b’ekibiina ky’amawanga amagatte ekya UNAIDS basisinkanye Minisita w’enkulaakulana y’abantu era avunaanyizibwa ku by’obulamu, Dr. Prosperous Nankindu Kavuma, abatuusize okusiima kwabwe eri Ssaabasajja Kabaka olw’obubaka obukwata ku bulwadde bwa mukenenya bweyawadde ku mukolo gw’okukuza olunaku lwa Bulungibwansi ne Gavumenti ez’ebitundu e Masuliita.
Sarah Nakku, Community mobilization and networking advisor, ne Angela Kateemu Nuwahereza, Communications and Coordination Officer, bebazze okwebaza kulwa UNAIDS.Mu bubaka bwe, Ssaabasajja yagambye nti,
“Nga bwetubategeeza bulijjo, tetujja kuzimba Buganda nga tetuli balamu, n’olwekyo twongera okubakubiriza okwekuuma, okwekebeza n’okwejjanjaba obulwadde bwa siriimu n’endwadde endala.
Mu mwaka 2017 omuwendo gw’abantu abaakwatibwa siriimu gwali gusse okuva ku bantu 90% okutuuka ku bantu 42%, okusinziira ku miwendo egyo, tulina essuubi nti omuwendo gweyongedde okukka. Ago amawulire ga ssanyu era gatuwa essuubi nti olutalo siriimu tujja kuluwangula. Twebaza minisitule y’obwakabaka ey’ebyobulamu, ne radio yaffe CBS, olw’omulimu omunene gwebakoze, okukubiriza abasajja okugenda okwekebeza siriimu.
AIDS Information Center, ekitongole ekikungaanya amawulire gonna agakwata ku nsasaana ya siriimu, balaze mu byebazudde mu bbanga ery’emyezi ebiri egiwedde, nti mu Wakiso ne Kampala, abasajja basinze abakyala okwekebeza, nga abaami 60% ate abakyala 40%, songa emabegako kibadde, abakyala 70% ate abaami 30%. Kino kikulu nnyo ddala kubanga ekizibu ekikulu ennyo mu kulwanyisa obulwadde buno, kibadde nti abaami babadde n’okutya kuyitirivu okwekebeza. Twongera okubiriza abasajja n’abalenzi okutwala ensonga y’okwekebezanga nga nkulu, ssi siriimu yekka naye n’endwadde endala zonna”.
Mu 2017 ekitongole kya UNAIDS kyalonda Ssaabasajja Kabaka okubeera emunyeenye mu kulwanyisa obulwadde bwa siriimu mu buvanjuba bwa Africa, nga kino akikola mu kukubiriza abantu okwewala obulwadde bwa mukenenya, okwekebeza, okwekuuma, naabo ababulina bagende bafune obujjanjabi.