Bya Musasi waffe
Abakungu mu kitongole ky’ekibiina ky’amawanga amagatte ekikola ku kulwanyisa siriimu ekya UNAIDS nga bakulembeddwamu akikulira mu Uganda Karusa Kiragu bakyaddeko e Bulange Mengo.
Eno bayaniriziddwa Katikkiro, Charles Peter Mayiga wamu ne minisita akola ku by’obulamu Oweek. Prosperous Nankindu Kavuma.
Mayiga abayisizza mu byafaayo by’Obwakabaka mu kukola ku by’obulamu bwa bantu okuviira ddala ku Ssekabaka Kimera okutuuka ku Ssekabaka Muteesa II eyazimba amalwaliro amangi mu Buganda.
“Tekyanditwewunyisizza nti Kabaka Mutebi II ku mulembe gwe asoosowazza eby’obulamu. Omulimu gwaffe omukulu kwekubangula abantu okwejjamu ebintu ebimu byetwesibako ate ebivaamu endwadde okukula mu bantu,” Mayiga bwagambye.
Katikkiro yakubirizza abantu okugula emijoozi benyingire mu misinde gy’amazaalibwa ga Kabaka.
UNAIDS kyekimu ku bitongole ebikolaganye n’Obwakabaka okutegeka emisinde gy’amazaalibwa g’Omutanda ag’omulundi 65.
Emisinde gino gyakubaawo nga Kafuumuulampawo 5 era nga gyakusimbulwa mu Lubiri e Mmengo Ssaabasajja Kabaka yenyini.
Gyakwetoololera ku mulamwa g’okulwanyisa siriimu mu basajja kubanga bebavaako okusaasaana kwa siriimu mu bakyala.
Kululwe, Kiragu yasiimye nnyo Obwakabaka okwenyingira mu kulwanyisa mukenenya n’akunga abantu bonna okubaawo mu misinde gino.