Bya Ssemakula John
Kampala
Kkampuni ya Ultimate Fitness Kampala (UFK) ekoze omukago ne ttiimu ya SC Villa okugiyambako okukuumira abazannyi baayo ku mutindo.
Kino kyalangiriddwa eggulo ku Lwokubiri mu kiwandiiko ekyafulumiziddwa akulira ebyamawulire ku kkiraabu eno, Bernard Olupot.
” Aba Ultimate Fitness Kampala basanyukidde eky’okutta omukago ne ttiimu esinga obuganzi mu Uganda Premier league” obumu ku bubaka obuli mu kiwandiiko bwe bwasomye.
Endagaano eno etegeeza nti, kati aba Ultimate Fitness Kampala (UFK) be bayambako aba SC Villa mu bintu by’okukola dduyiro wamu n’okukuuma emibiri gy’abasambi nga giri ku mutindo era ng’ebaliriddwamu obukadde bwa siringi za Uganda 430,726,000/=.
Omutendesi wa Villa, Edward Kaziba, yasanyukidde endagaano eno n’ategeeza nti bulijjo kino kye beetaaga.
Sizoni ewedde SC Villa yamalira mu kifo kyakusatu n’obubonero 46 okuva mu nzannya 25 oluvannyuma lwa liigi y’eggwanga okusazibwamu olw’ekirwadde kya Ssennyiga Corona.
Wakati nga liigi egenda kuddamu mu mwezi ogujja ogwa Novemba, aba SC Villa baatandise dda okwetegeka basobole okuvuganya obulungi mu sizoni ya 2020/2021