Bya Ssemakula John
Mukono
Ssettendekero wa Uganda Christian University (UCU) e Mukono atuuse ku nzikiriziganya n’akakiiko akakulira eby’ensoma mu matendekero agawaggulu (Nationa Council for Higher Education) okuddamu okusomesa abayizi nga bayitira ku mutimbagano.
Bino byanjuddwa abakulembeze ba Ssettendekero ono mu lukungaana lwa bannawulire olutudde ku kitebe kyabwe e Mukono ku Lwokusatu.
Amyuka Ssenkulu era nga yatwa ebyenjigiriza ku UCU Dr. John Kitayimbwa, yagambye nti gavumenti yamaze dda okubakkiriza okuggulawo era okusoma kugenda kutandika nga 17/09/2020.
Kitayimbwa yanyonyodde nti abayizi babwe 90 ku 100 balina Kompyuta n’ essimu zirumamyo (Smart Phones) nalaga nti kisoboka abayizi okusomera ku mutimbagno era nga kugenda kuba kwa bwerere.
Ono yagasseeko nga bwebamaze edda okukwatagana ne Kkampuni ya MTN era nga abayizi bagenda kukola kimu kugula ‘data’ ku nkumi ssatu (3000) olwo beyunge butereevu ku mikutu gya ssettendekero.
“ Njagala okutegeeza abazadde n’abayizi nti embeera eyinza obutaddamu kubeera kyekimu, gavumenti nebwenaggulawo amasomero, ebintu tebigenda kuddamu nga bwebyali,” Kitayimbwa bweyanyonyodde.
Ono yagambye nti ebibuuzo abayizi byebanatuula bigenda kutwalibwa mu maka gabwe era nasaba abali ewala okukubira ssettendekero ono balabe bwebasobola okubatuusaako ebibuuzo bino.
Dr. Kitayimbwa era yalaze nga bwebataddewo ttiimu enoonye ssente mu bantu zisobole okuyambako okuyimirizaawo abakozi ba ssettendekero ono abatakyakola.