Masaka
Abakuliddemu okunoonyeza omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Ssekandi akalulu bagamba nti waliwo abantu abakidde ebipande by’omuntu waabwe nebabiyuza wamu n’okubikuulamu amaaso n’omutwe mu kitundu kya Bukoto Central.
Bano bategeezezza nti okuva guno gubunye mu kitundu kyabwe naye okusinga guli mu ggombolola y’e Kyesiiga ne Kyannamukaaka era nga balumiriza nti abavubuka ba People Power bebali emabega w’ebikolwa bino.
“Abaana bano aba NUP naddala mu kitundu kye Buyaga bagezaako okulaba nti balemesa ebifaananyi bya Vice Presidenti okuwanikibwa naye ne twagala tubakwate ng’abazadde ensonga eno tugikwate ng’abazadde, kubanga Owek. Ssekandi tayagala ntalo,” Akulira okunoonyeza Ssekandi akalulu, Gerald Ntuuwa bw’anynonnyodde.
Ono agasseeko nti ebipande bino byayonooneddwa ku Lwakuna ekiro okuwakula entalo n’okusiiga ekifaananyi nti Ssekandi muntu mubi nnyo.
Bw’abadde yaakamala okuwandiisibwa Ssekandi ategeezezza nti mwetegefu okutuula ne banne bwe bavuganya bakkaanye addeyo mu palamenti kubanga alina byatannaba kumaliriza mu nteekateeka ye ey’okuweereza abantu.
Ssekandi ali ku mbiranye ne munnakibiina ki NUP, Magellan Kazibwe era nga ono bw’atuukiriddwa ategeezezza nti si kituufu nti abawagizi be be bali emabega w’ebikolwa bino.
Abalala abali mu lwokaano kuliko; Munna DP Richard Ssebamala, Fredrick Ddembe atalina kibiina, Evelyn Namaganda ne Godfrey Mayanja.
Kinajjukirwa nti okuyuza ebipande oba okubyonoona kimenya etteeka erirambika okulonda ababaka ba Palamenti erya ‘Parliamentary Election act 2001’ ekitundu nnamba 83(2) era ng’ono asobola okusibwa oba okuwa engassi.
URN