Bya Ssemakula John
Kampala
Ababaka b’oludda oluvuganya nga bakulembeddwa alukulira, Mathias Mpuuga, ku Lwokubiri beekalakaasizza ne bafuluma gavumenti nga bawakanya engeri ebitongole by’ebyokwerinda gye byazzeemu okukwata ababaka bannaabwe.
Kino kiddiridde omubaka wa Kawempe North, Muhammad Ssegirinya ne Ssewanyana owa Makindye West, okuddamu okukwatibwa mu ngeri eringa ey’okubawamba oluvannyuma lw’okuyimbula ku kakalu ka kkooti ak’obukadde 20 ez’obuliwo okuva mu kkomera e Kigo.
Palamenti eyatudde ku Lwokubiri etabukidde Ssaabawolereza wa gavumenti, Kiryowa Kiwanuka okunnyonnyola eby’okuddamu okukwatibwa kwa bano.
Mu kwanukula, Ssaabawolereza Kiwanuka ategeezezza Palamenti nti ababiri bano bagenda kusimbibwa mu kkooti wabula n’ategeeza nti bano basobola okuddamu okukwatibwa emirundi gyonna okusinziira ku misango gye babeera bazizza.
“Basobola okuddamu okukwatibwa emirundi gyonna egituukana n’emisango gye bazza.” Kiwanuka bw’ategeezezza Palamenti.
Kino kiggye ababaka naddala ku ludda oluvuganya mu mbeera nga bakuliddwa akulira oludda oluvuganya, Mathias Mpuuga ne bafuluma Palamenti okulaga obutali bumativu bwabwe.
Mpuuga ategeezezza bannamawulire ng’ebigambo bya Ssaabawolereza Kiwanuka bwe bibadde bisaanuula emmeeme era ebiwaawaaza amatu mu ntaputa y’amateeka era bw’atyo abadde alina okufuluma Palamenti nga tasobola kwetaba mu kukubaganya birowoozo kwa kika kino.
Ku Mmande, omwogezi wa poliisi, Fred Enanga yategeezezza bannamawulire ng’okuddamu okukwatibwa kw’ababaka bano bwe kwekuusa ku misango gy’okulya mu nsi olukwe gye balina okuvunaanibwa.
Ababaka bano baali baakwatibwa ne basindikwa mu kkomera e Kigo olw’emisango egigambibwa nti beetaba mu kutemula bannamasaka ekyatwala obulamu bw’abantu abawera 25 abaalumbibwa ab’ebijambiya mu kiro.