Bya Musasi Waffe
Kampala
Ababaka ba National Unity Platform (NUP) abawerera ddala bataano, ku abo 65 abagenda okutuula mu Palamenti y’e 11, balaze obuwagizi bwabwe eri Sipiika Rebecca Kadaga ng’atongoza kkampeyini ze ku Lwokusatu ku Speke Resort e Munyonyo.
Ku bano kuliko; Omubaka John Baptist Nambeshe (Manjiya County), Orishabe Patrick Nsamba ( Kasanda North), Bashir Kazibwe Mbazira (Kawempe South) ne Joyce Bagala (Mityana Woman).
Ensonda ezeesigika zaategeezezza nti omwogezi wa NUP, Joel Ssenyonyi era omubaka omulonde owa Nakawa West, wadde teyabaddewo ku mukolo guno naye awagira Kadaga.
Wakati nga batongoza kkampeyini zino, omubaka omukyala owa Dokolo mu Palamenti, Cecilia Ogwal yatabukidde bannakibiina kya National Resistance Movementi (NRM) olw’okusalawo okulwanyisa Kadaga nga baagala okumusikiza Oulanyah.
Ono agamba nti emivuyo egiri mu kibiina kino tagirabwanga kuba wadde baavaayo okutaasa ekifo ky’omumyuka wa Ssentebe waakyo kyokka ne balemwa okutaasa ekifo kya Kadaga nga Sipiika.
Kadaga yakakasizza nti alina obuwagizi bw’ababaka kuba emirimu gye abadde agikola mu ngeri egatta abantu era buli mubaka agezezaako okumuwa omukisa okwogera nga tafuddyo ku kibiina mwava.
“Olumu nfuna okusoomoozebwa mu kibiina kyange kuba babeera baagala nnyigirize oludda oluvuganya naye nze ndi Sipiika wa bonna.” Kadaga bwe yannyonnyodde. Kadaga yawakanyizza ebyogerwa nti yaguliridde ababaka n’obukadde 60 ng’ayagala bamulonde ky’agamba nti si kituufu.
Okuvuganya okwamaanyi mu kalulu kano kuli wakati wa Sipiika Rebecca Kadaga n’omumyuka we, Jacob Oulanyah wadde nga waliwo n’abeesimbyewo abalala okuli n’Omubaka Ibrahim Ssemujju Nganda.