Bya Ssemakula John
Kamwokya
Omubaka Robert Kyagulanyi era Pulezidenti w’ekibiina ki National Unity Platform (NUP) atongozza kaweefube w’okunoonya ssente ezinabayambako okunoonya akalulu atuumiddwa ‘Muda ku Muda’.
Kaweefube Kyagulanyi yamutongozza ku Lwokubiri wali ku kitebe ky’ekibiina e Kamwokya nasaba bannayuganda bonna okuwaayo kyebalina kubanga beetaaga ssente mu kalulu kano.
Kyagulanyi era yalabudde bannakibiina naddala abakakiiko k’ebyokulonda akalina okusunsulamu abakwatira ekibiina bbendera okwewala okulya enguzi kubanga eggwanga lyonna libataddeko amaaso.
Omubaka Kyagulanyi yagambye nti,“Ffenna ffenna twenkana era tulina obuvunanyizibwa bwebumu. Tewali gwetugenda kusukkulumya ku munne ate tetulina gwetugenda kukakkanya ku mulala.”
Ono yakuutidde akakiiko k’ebyokulonda akapya okumanya nti bebakutte ekifananyi kye kibiina era nga bannayuganda balinze okulaba nga boolesa obwerufu n’obwesimbu mukusalawo anakwata bbendera.
Yazzeemu nakukkulumira ab’ebitongole by’ebyokwerinda ababalemesa okugenda ku mikutu gy’ebyempuliziganya egy’enjawulo wadde nga bakimanyi nti akalulu kano kakunoonyezebwa mu nkola ya sayansi nalaga nga bwebagenda okwongera okubatwala mu kkooti.
Kyagulanyi asabye abavubuka okuvaayo beesimbewo kubanga lino ddembe lyabwe era bafube okulaba nga NUP oba Opozisoni esimbawo omuntu nalaga nga bwebalina enteekateeka y’okukolera awamu nga Opozisoni gyebafumba.
Mu kwogera kwe, ssentebe akanoonya ssente era nga y’amyuka Ssaabawandiisi wa NUP Aisha Kabanda,yategeezezza nga bwebanoonya ssente akawumbi kalamba okusobola okutambuza kampeyini zabwe.
Zino Kabanda agamba nti basuubira okuzijja mu bannayuganda abawera obukadde 12 okwetoloola ensi yonna era nga bajja kukola buli kimu okulaba nga buli nnusu etuukirizza ekigendererwa.